TOP

KCCA FC efunye kawumbi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2017

KCCA FC bw’eriremwa okukola obulungi mu mpaka z’Afrika sizoni ejja eryekwasa kirala naye si nsimbi.

Betiolivekamya20162cmy703422703422 703x422

Kamya

KCCA FC bw’eriremwa okukola
obulungi mu mpaka z’Afrika
sizoni ejja eryekwasa kirala naye
si nsimbi.
Mu Bajeti empya ey’ekitongole
kya KCCA ey’omwaka
gw’ebyensimbi 2017/18,
KCCA FC ‘Kasasiro Boys’,
abaddukanya ekibuga Kampala
bagiteereddemu kavvu wa
kawumbi kamu n’obukadde 450
ez’okusaasaaanya mu mpaka
ez’omupiira munda n’ebweru
w’eggwanga.
Ssente ezo ze zimu ku buwumbi
bubiri n’obukadde 600 KCCA
z’etaddewo okukola ku byemizannyo
mu bajeti ya
KCCA ey’omwaka
gw’ebyensimbi
2017/18 ogutandika
nga July 1,
2017.
Bajeti ya
Kampala
yonna awamu
ey’omwaka
2017/18 ya
buwumbi 337
n’obukadde 390
okusinziira ku
kiwandiiko kya ‘Ministerial
Policy Statement
for Kampala Capital City
Authority’, Minisita wa Kampala
Beti Olive Kamya gye yayanjulidde
Palamenti.
Mu kiwandiiko ekyo,
Minisita Kamya yagambye
nti ensimbi endala
ku buwumbi bubiri
n’obukadde 600,
zigenda kukola ku
kiraabu za KCCA
endala okuli
ey'okubaka, basketball,
ebikonde,
ttiimu y’emisinde,
n’endala.
KCCA ye kyampiyoni
wa AZAM Premier
League ng’eri ne
mpaka za Conferederation
mwe'rindiridde okudding'ana
ne ttiimu ya Misiri eya Al Masry
gwe yawangudde ggoola 1-0 mu
mupiira ogwasoose e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi