TOP

Munnamateeka Kabega awera kweriisa nkuuli mu za FMU

By Nicholas Kalyango

Added 25th April 2017

NG’ABAVUZI b’emmotoka z’empaka betegekera empaka za laawundi eyookusatu ku kalenda y’engule y’eggwanga NRC, munnamateeka Musa Kabega aweze obutawera okutuusa ng’atuukiriza ekiruubirirwa kye eky’omwaka guno.

Cousel2 703x422

Evo 8 ya Musa Kabega (mu katono). EKIF: NICKOLAS KALYANGO

Kabega ategeezezza nti, omwaka guno ayagala kumalira mu bifo ebisatu ebisooka ku ngule ya NRC.

Ayagala kutandika n’empaka za FMU Challenge Rally ezigenda okubeera e Kayunga wiikendi eno.

“TetunNava ku kirUubirirwa kyaffe sizoni eno. Ng’enda kukozesa empaka zino okumalira mu bifo ebina okufuna obubonero obunannyamba okutuukiriza ekiruubirwa kyange,” Kabega bwe yaweze.

Ku ngule ya NRC, Kabega ali mu kifo kya 10 n’obubonero 35 nga Duncan Mubiru akulembedde amusinza obubonero 125 kw’obwo 160 bw’alina.

Empaka za ‘FMU Challenge Rally’, zaakuvugibwa okumala ennaku bbiri mu bitundu okuli; Busiika gye bagenda okusookera nga tebannayolekera Kayunga mu bitundu by’e Bbaale, Kitimbwa, Nakyesa n’e Kitwe ku buwanvu bwa kiromita 175 ng’abavuzi  45 be bakakasizza okwetaba mu mpaka  zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?