TOP

Anthony Joshua aggunze Klitschko

By Musasi wa Bukedde

Added 30th April 2017

OMUNGEREZA Anthony Joshua yalangiriddwa ku bwakyampiyoni bw’ebikonde mu nsi yonna oluvannyuma lw’okumegga Wladimir Klitschko ku Lwomukaaga.

3fc14475000005784459208imagea241493506500229 703x422

OMUNGEREZA Anthony Joshua yalangiriddwa ku bwakyampiyoni bw’ebikonde mu nsi yonna oluvannyuma lw’okumegga Wladimir Klitschko ku Lwomukaaga.

Ddiifiri ye yayimirizza ensiike yaabwe mu lulwana olw’e 11 nga Joshua ky’akola Klitschko enkoko baana.

Olulwana luno lwagasse emisipi gy’ebibiina IBF, WBA ne IBO era nga gyonsatule Joshua y’agirina.

Wabula Klitschko, enzaalwa y’e Ukraine, yasabye ensiike eno eddibwemu nti wadde yasuuliddwa ku ttaka enfunda bbiri yabadde alina amaanyi agamalako lawundi ey’e 12.