TOP

'Tulina kutandika na maanyi mu za Afrika' - Micho

By Stephen Mayamba

Added 4th May 2017

OMUTENDESI wa Cranes Micho Sredojevich aweze nga bw'agenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga ttiimu ye etandika bulungi kampeyini y’ezokunsunsulamu z’empaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo ezigenda okubeera e Cameroon mu 2019.

Cranes 703x422

Omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich (ku ddyo) ng'ayanjula entekateeka y'okwetegekera omupiira gwa Cape Verde ogugulawo kampeyini y'okusunsulamu abalizannya mu mpaka z'omupiira gwa Africa ez'akamalirizo ezigenda okutegekebwa Cameroon mu 2019. Ku kkono ye Ahmed Hussein omwogezi wa FUFA. (STEPHEN MAYAMBA)

Mu kibinja L Uganda eggulawo ne Cape Verde ku bugenyi mu kibuga Pria wakati wa June 9 ne 11, omupiira Micho gw'agamba nti mukulu nnyo beetaga okuguwangula oba waakiri okugufunamu akabonero kubanga ne bannyinimu si bangu ewaabwe era Cranes yetaaga okwetegeka obulungi.

Okutuukiriza kino, Uganda egenda kuzannya egy’okwegezaamu ebiri nga tennattunka na Cape Verde.

Egenda kusooka kwegezaamu ne Ethiopia nga June 3 mu kibuga Addis Ababa w'enaava okwolekera ekibuga Dakar ekya Senegal era yeegere ne bannyinimu nga June 6 nga tebanneeyongerayo Cape Verde.

Ttiimu yaakundika okutendekebwa nga May 20 okumala ennaku 6 balyoke bayingire enkambi gye bajja okumalamu ennaku 4.

Abalala abali mu kibinja ne Uganda ne Cape Verde ye; Tanzania ne Lesotho era omuwanguzi waakuyitamu butereevu okuzannya mu z’akamalirizo mu January wa 2019.

Uganda enoonya kuzannya mu mpaka zino omulundi ogw’omuddiring'anwa oluvannyuma lw’okwetaba mu z’abadde e Gabon ku ntandikwa y’omwaka guno n'etava mu kibinja D mwe yabadde ne Misiri, Ghana ne Mali.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...