TOP
  • Home
  • Rally
  • Aba ddigi bawera kweriisa nfuufu e Garuga

Aba ddigi bawera kweriisa nfuufu e Garuga

By Nicholas Kalyango

Added 12th May 2017

KU Ssande, abavuzi ba ddigi 58 lwe bagenda okuddamu okuvuganya nga balwanira obubonero ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo.

Dd 703x422

Maxime Van Pee (ku kkono) ng'attunka ne Barrack Orland e Busiika. EKIF: NICHOLAS KALYANGO

Abavuzi bano, bagenda kuttunkira Garuga mu mpaka za laawundi eyookuna ku kalenda.

Maxime Van Pee y'akulembedde omutendera gwa bakafulu n’obubonero 120 ng’addiriddwa Asaf Natan ne Arthur Blick Jr nga bano bonna bawera kwerisa nfuufu nga batudde ku byuma.

“Engule njagala era sigenda kuleeka muvuzi n’omu kuginnemesa omwaka guno. Arthur ne Natan mbawa ekitiibwa kubanga bavuzi balungi naye mu mpaka ebyo mbyerabira,” Maxime bwe yaweze.

Mu balala abavuganya, ye Fortune Ssentamu ne Ben Nsumba mu mutendera gwa Mx 85cc, Alestair Blick, Ali Omar ne Fatuh Kiggundu (mu gguddirira bakafulu), William Blick ne Miguel Katende (mu gw’abato).

Abavuzi baakweyambisa empaka zino okwetegekera ez’Afrika ezijja okubaawo mu August.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja