TOP

Eyali ssita wa KCC ayigga obukadde 10

By Hussein Bukenya

Added 18th May 2017

AUSI Kaaya, omu ku bassita abaali mu KCC FC (kati KCCA FC) ng'ezannya empaka za 'CAF Champions League' mu 2009 muyi.

Para1 703x422

Ttiimu ya KCC eyakuba Ferroaviaro eya Mozambique ggoolo 2-0 mu mpaka za 'CAF Champions League' nga February 14, 2009 e Nakivubo. Mu ssaako ye Hausi Kaaya

Yeetaaga obukadde 10 okumulongoosa amawuggwe.

Kaaya, eyazannyanga mu kitongole ekizibizi, ali mu ddwaaliro eriyitibwa Capital Health Center e Kasangati ku lw'e Gayaza, gy'amaze wiiki emu n’ekitundu.

Obulwadde bwamukwata ku ntandikwa y'omwezi oguwedde n’ajjanjabirwako e Mulago okumala wiiki bbiri n'oluvannyuma n'atwalibwa e Kasangati.

Mukyala we, Sophie Namuyomba, amujjanjaba, yategeezezza nti embeera bba gy’alimu teyeeyagaza kuba obulwadde bumuluma nnyo ate nga tebalina ssente.

 aaya ku kitanda e asangati Kaaya ku kitanda e Kasangati.

 

Yagambye nti ku Capital Health Center baakumalayo wiiki bbiri oluvannyuma batwalibwe e Nakasero, alongoosebwe ekyabaliriddwa ssente ezisoba mu bukadde 10.

“Abasawo bafubye okutujjanjaba kyokka obulwadde bukyalemye. Ne ssente ze tukozesa tetuzirina kuba ne wano we tuli tetunnamanya bbiiru yaawo,” Sophie bwe yayogedde mu nnaku n'laajanira abazirakisa okubadduukirira.

Kaaya, avaamu amazzi mu mawuggwe, yasabye bannabyamizannyo na buli muntu alina obusobozi okumuyamba.

Osobola okumudduukirira ng’oyita ku ssimu nnamba 0703538126.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini