TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazungu bajjanjabye abazannyi abaafuna obuvune ku bwereere

Abazungu bajjanjabye abazannyi abaafuna obuvune ku bwereere

By Silvano Kibuuka

Added 19th May 2017

Abasawo abakugu mu kujjanjaba amagumba n’obuvune okuva mu Canada basiimye ekkubo erikwatiddwa National Council of Sports okukunga abazannyi okukeberebwa basobole okujjanjabwa okuddamu okuzannya.

Ncscorsumay182017bukedde2 703x422

Omusawo okuva mu Canada Prema Gopie nga yeekebejja kapiteeni wa ttiimu y'ebikonde Yusuf Babu e Lugogo May 18 2017 . (ekif: Silvano Kibuuka)

Abazannyi abasoba mu 70 be baakakaberwa obuvune mu nnaku ssatu.

Baatandise ku Mmande okwebejja abazannyi okuva mu mizannyo egitali gimu okuli; Rugby, omupiira, netball, basketball n’okudduka nga be basinga okukozebwa obuvune.

Baasomesezza n’abasawo bakiraabu n’ebibiina by’emizannyo ebitali bimu e Lugogo ku kitebe kya NCS.

Eyakulimbeddemu abasawo bano, Polof. Jack Taunton yagambye nti wasaana okubaawo okwongera amaanyi mu bazannyi, okubakebera obuvune buli ntandikwa ya sizoni, okufuna obujjanjabi obulungi nga tebannaddamu kuzannya.

Ssaabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi yagambye nti enkola eno yaakubaawo buli mwaka.

Abasawo bano baakolaganye n’eddwaliro lya Corsu e Kisubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini