TOP

She Cranes yeetegekera gwa kwegezaamu ne Malawi

By Stephen Mayamba

Added 19th May 2017

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka yaakuzannyamu ogw’okwegezaamu ne Malawi okwongera okwenyweza nga beetegekera empaka z’amawanga Africa ez’omwezi ogujja.

Ezokubaka1 703x422

Imelda Nyongesa omutendesi wa She Pearls ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eyabatasussa myaka 21 ng'ayogera n'abazannyi be bwe ababadde beegezaamu ne bakulu baabwe aba She Cranes abeetegekera empaka za Africa Uganda z'egenda okutegeka omwezi ogujja. (STEPHEN MAYAMBA)

She Cranes yatandise okutendekebwa ku Lwokubiri mu kisaawe e Namboole nga beetegekera empaka  za African Netball Championship ezigenda okuzannyibwa wakati wa June 24 ne 30 mu kisaawe ky’omunda ekya MTN Arena ku kitebe ky’akakiiko akafuga emizannyo mu ggwanga aka NCS e Lugogo.

She Cranes egenda kusooka kwegezaamu ne Malawi wiiki ejja (May 30) era  Okusinziiira ku nsengeka z’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu nsi yonna, INF ezaasembyeyo okufulumizaibwa omwezi oguwedde Malawi ekwata kyamukaaga ng'eri mabaga wa South Africa so nga Uganda eri mu kya 13.

Mu ngeri y'emu ne bato baabwe aba She Pearls, ttiimu y’eggwanga ey’abatasusa myaka 21 nayo eri mu kutendekebwa nga yeetegekera empaka z’ensi yonna eza Youth Netball World Cup zegenda okwetabamu mu July e Botswana (July 8 - 16).

Ttiimu zombi kati zitendekebwa wamu nga ku makya basooka mu jiimu eyitibwa Planet e Namugongo  okukajjuza oluvannyuma ne boolekera Namboole okutendekebwa eby’omukisaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...