TOP

Ebikulu 9 ebibadde mu liigi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2017

Ebikulu 9 ebibadde mu liigi

Nu1 703x422

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo ng’akwasa abazannyi ba KCCA ekikopo kya sizoni 2015/16.

LIIGI y’eggwanga eya Azam Uganda Premier League yakomekkerezeddwa eggulo (Lwamukaaga) ku bisaawe eby’enjawulo era KCCA FC n’ekwasibwa ekikopo mu butongole oluvannyuma lw’okuttunka ne Sadolin e Lugogo.

HUSSEIN BUKENYA akulaze ebimu ku bikulu ebibadde mu sizoni eno: ABATENDESI BAGOBEDDWA Abatendesi abawerako bagobeddwa ng’entabwe eva ku ngeri gye babadde bakkirizaamu obukwakkulizo obukakali. George Lutalo yaweebwa ogwa Soana ku kakwakkulizo ka kuwangula bikopo bibiri kyokka yatuuka kugobwa nga tawanguddeyo mupiira gwonna.

Ku SC Villa, Deo Serwadda nti yakkiriza akakwakkulizo k’okuwangula emipiira 6 egisooka mu liigi kyokka kyamulema n’agobwa. Abatendesi abalala kuliko; Shafiq Bisaso eyasikira Sserwadda eyagobwa oluvannyuma lwa ttiimu okukola amaliri 3 ag’omuddiring’ana. Wasswa Bbosa ne Alex Gitta baagobwa mu Express okukkakkana nga Bossa abbulukukidde mu Villa. Kefa Kisala yali wa URA naye n’agobwa.

Isabirye yava mu Kirinya Jinja SS, Frank ‘Video’ Anyau abawagizi ba BIDCO baamufuumuula ku ttiimu ate Vipers yagoba Abdallah n’omumyuka we, George Nsimbe. Mubiru yakansibwa Police FC ate Nsimbe yafuna omulimu mu Tusker FC.

Vipers yazza Richard Wasswa ne Edward Golola ate nabo n’ebagoba n’ebasikiza Omuzungu Miguel da Costa Emipiira okuyiika Omwezi guno, omupiira gwa Proline ne Express ogwali e Wankulukuku gwayiika era akakiiko omusango ne kagusalira abawagizi ba Express. Ogwa JMC ne Police e Kakindu nagwo gwayiise. Emipiira emirala egibaddemu akajagalalo kuliko; Villa ne Soana e Kavumba, JMC ne KCCA e Kakindu, BIDCO ne Villa e Kakindu n’emirala egy’enjawulo kata giyiike.

Vipers okumenya likodi ya KCCA KCCA yali emaze emipiira 15 nga tekubwa mu maka gaayo e Lugogo kyokka Vipers yabalumba n’ebakubirawo 2-1 era likodi y’obutakubwa e Lugogo n’ekoma awo.

Baddiifiri okukaligibwa Musa Balikoowa, eyasala ggoolo ya Express ng’ettunka ne Villa e Namboole ne Moses Oloya, eyatta eya KCCA ng’ezannya ne Kirinya Jinja SS baakaligibwa okumala sizoni nnamba nga tebazzeemu kulamula mipiira.

Ttiimu okubone rezebwa Express, Lweza, KCCA FC, Villa, Onduparaka zonna ziweeseddwa engassi sizoni eno lwa bawagizi baazo kukola ffujjo. Express bwe yali ettunka ne Bright Stars e Wankulukuku ekisaawe baakigobamu abawagizi nga kino kyali kibonerezo olw’efujjo lye baali bazze bakola kyokka era baayongedde okubatanza 1,000,000/- lwa kuyiwa mupiira gwa Proline.

Ttiimu endala baaziweesa engassi omwali; 300,000/- ne 500,000/-. Villa okudda e Masa ka Villa yali emaze emyaka 22 nga tekyaliza mu kisaawe kya Masaka Recreation Ground kyokka mu March w’omwaka guno, omugagga Hamis Kiggundu yaggala Nakivubo n’ekigendererwa kw’okumuzimba okutuukana n’omutindo ekyaleka Villa nga terina kisaawe gye yali ekyaliza. Obutaka yabuzza Masaka ng’eno abawagizi baayo gye balina okugenda okugiraba kubanga gy’ekyaliza.

Onduparaka okukubwa ggoolo 7-0 Onduparaka eyali yeegulidde erinnya mu kuwangula ttiimu ennene, KCCA yagikkakkanako n’egiwuttula ggoolo 7-0.

Wadde omupiira guno gwali Lugogo, kyali kizibu okukkiriza nti Onduparaka ffoomu gye yaliko yali esobola okukubwa ggoolo ezo zonna. Mu kisaawe ky’e Lugogo, Onduparaka yakubirwawo ggoolo 10 mu wiiki emu kuba Proline ye yasooka okubakuba 3-0 nga KCCA tennagikuba 7-0.

Onduparaka okukaAbya abanene Nga liigi yaakatandika, Onduparaka yayolesa omutindo omulungi bwe yakuba buli ttiimu eyagendanga mu Arua (Green Light Stadium).

Yakuba KCCA (2-1), Vipers (1-0), Express (3-1) ne SC Villa (4-3) nga guno ogwa Villa gwe gwagobya Sserwadda. Kyokka mu kitundu ekyokubiri byagitabukira. Vipers okufuna omuvujjirizi Gwe mulundi ogusoose bukya ttiimu eno etondwawo okufuna kkampuni egiteekamu ssente.

Vipers yafuna Hima Cement eyagiyiwamu obukadde 632 okumala emyaka esatu ne Roofings erangira ku kisaawe kyayo ekipya ekya St Mary’s Stadium.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....