TOP

Mubikirwa asitukidde mu ngule y'emifumbi

By Herbert Musoke

Added 22nd May 2017

OLUVANNYUMA lw'ebbanga ng'avuganya mu muzannyo gw'okusiba emifumbi, Isaac Mubikirwa ayimukidde mu ngule y'empaka za Mr. Kampala 2017 ezabadde ku woteeri ya Grand Global e Makerere mu Kampala, bwe yamezze abazannyi abalala 42 abeetabye mu mpaka zino okwabade n'eyamuwangula mu za Mr. Uganda omwaka oguwedde.

Global3 703x422

Isaac Mubikirwa (mu ssaako) eyawangudde engule ya Mr. Kampala. EBIFAANANYI BYA HERBERT MUSOKE

Mubikirwa agamba nti kino akikoleredde era egenda kwongera okulaga nti y'asinga mu muzannyo guno ng'amegga buli anamwesimbako mu buli mpaka za kuno n'oluvannyuma agende mu z'ensi yonna okuwangulira Uganda emidaali. 

Omumerika Dr. Irsat Gunawan omuyima w'omuzannyo gw'emifumbi mu Uganda, agamba nti waakugenda mu maaso n'okuwagira omuzannyo guno era ayagala okuyamba ku Uganda okutandika okutegeka empaka z'ensi yonna. 

Mu mpaka zino mwabaddemu n'abawala abaacamude abawagizi bwe baalaze emibiri n'obwaffiiti mu mpaka za 'Fitness and Muscle modeling' nga zino zaawangudde Iren Kasubo eyaziwangula mu mpaka za Mr. Uganda omwaka oguwedde.

Wansi mu kifaananyi, Kasuubo ng'alaga emifumbi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...