TOP

Micho ayise 44 abazannyira awaka okwetegekera South Sudan

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2017

OMUTENDESI wa Cranes Micho Sredojevich ayise abazannyi 44 abazannyira awaka batandike okutendekebwa ku Lwokusatu nga May 24 okwetegekera emipiira ebiri egy’okusunsulamu abalizannya mu za Africa ez’akamalirizo abazannyira awaka eza Nations for African Championship (CHAN) ezigenda okubeera e Kenya ku ntandikwa y’omwaka ogujja.

Chan 703x422

Omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich (ku ddyo) ng'ayogera n'abazannyi ba Cranes abagusambira awaka bwe baali beetegekera okuzannya ogw'okwegezaamu ne ttiimu ya ligyoni ya Eastern e Kamuli mu March. (STEPHEN MAYAMBA)

Uganda egenda kuzannya ne South Sudan eyaggyeemu Somalia ku luzannya olusookereza (Uganda teyaluzannye) ng’omuwanguzi waakuzannya anaawangula wakati wa Tanzania ne Rwanda okufunako eggwanga erinaakiikirira ekitundu ky’amawanga g’Obuvanjuba n’amasekati ga Africa (CECAFA). Kenya yo yayitamu ng’abategesi.

Sudan y'ejja okusooka okukyaza nga July 14 olwo badding'ane oluvannyuma lwa wiiki emu.

Abazannyi abayitiddwa okuzinziira ku mukutu gwa FUFA ogwa www.fufa.co.ug Micho ategeezezza nti abazannyi bano abayitiddwa agenda kugenda abasunsulamu mpolampola ng’ekigezo ekisooka bagenda kuzannya ogw’okwegezaamu ne ttiimu ennonderere okuva mu ligyoni ya Kitara ku Ssande e Fort Portal.

Bo aba KCCA FC balekeddwa bbali kubanga bakyali ne ttiimu yaabwe nga basamba mu mpaka za CAF Confederations Cup ku mutendera gw’ebibinja.

Abazannyi bayitiddwa;

IsmaWatenga, Keni Saidi, Tom Ikara, Nicholas Sebwato, Nicholas Wadada, Allan Drajua, Ibrahim Kibumba, Edie Kampamba, John Adiriko, Martin Kiiza, Isa Mubiru, Hassan Musana, Halid Lwaliwa, Beenard Muwanga, Savio Kabugo, Mohamed Yiga, Solomon Wafula, Maxwell Okello, Timothy Sebude, Deus Bukenya, Tadeo Lwanga , Emmanuel Kalyowa, David Bagole Yunus Sibira,  Nicholas Kasozi,  Rahmat Senfuka Rahmat, Farouk Banga, Erisa Sekisambu, Milton Karisa, Francis Olaki, Shafiq Kagimu, Juma Balinya, Pius Kagwa, Method  Bassey, Gadafi Gadinho, Emmanuel Okwi, Shaban Mohamed, Gift Ali, Nelson Sekantuka, Solomon Okwalinga, Julius Malingumu, Umar Kasumba, Villa Oromchan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi