TOP

Cranes egenze Tooro

By Hussein Bukenya

Added 27th May 2017

WADDE omupiira gwa Cranes ne Kitara Region si gwa maanyi, omutendesi Micho Sredojovic agamba nti mukulu nnyo eri abazannyi abalwana okuyingira mu ttiimu ye egenda okuttunka ne Cape Verde nga June 11 mu z’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika eza 2019 e Cameroon.

Micho1 703x422

Micho ng'atendeka abazannyi e Namboole.

Bya HUSSEIN BUKENYA
Ssande e Fort Portal - Tooro
Kitara Region - Cranes, 10:00
 
WADDE omupiira gwa Cranes ne Kitara Region si gwa maanyi, omutendesi Micho Sredojovic agamba nti mukulu nnyo eri abazannyi abalwana okuyingira mu ttiimu ye egenda okuttunka ne Cape Verde nga June 11 mu z’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika eza 2019 e Cameroon.
 
Cranes esitula leero (Lwamukaaga) bazannye enkya (Ssande) e Fort Portal mu nkola yaayo ey’okutambula ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Micho yategeezezza nti ekigendererwa ky’omupiira
guno kya kwetegererezaamu abazannyi b'anaagatta ku ttiimu enkulu.
 
Mu ttiimu gye yatutte mulimu; Savio Kabugo, Emma Okwi ne Francis Olaki abaazannyirako Cranes enkulu wabula m  kampeyini ezisembyeyo, Micho abadde takyabayita olw’omutindo omubi ogw'ekibogwe nga n'abamu babadde n’obuvune.
 
"Njagala kwetegereza abamu ku bazannyi be naakozesa mu mpaka za
CHAN wamu ne ku ttiimu enkulu,” Micho bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rema1 220x290

Sebunya bwe yansaba laavu saamudaaza...

REMA Namakula attottodde laavu ye ne Dr. Hamza n’atangaaza ku byaliwo mu kwanjula bwe yakyusa ssenga ku ssaawa...

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February