TOP

Cranes etandise kaweefube okuddayo mu za Afrika

By Stephen Mayamba

Added 30th May 2017

UGANDA Cranes wansi w’omutendesi Micho Sredojevich enkya ya leero etandise mu butongole okutendekebwa mu kisaawe e Namboole mu kaweefube w’okuddayo mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo.

Cranes1 703x422

Ttiimu ya Uganda Cranes eyatandika omupiira gwa Mali mu mpaka za AFCON 2017 e Gabon. Uganda etandise kaweefube w'okuddamu okuzannya mu AFCON nga yeetegekera omupiira gwa Cape Verde ogw'okusunsulamu mu za AFCON 2019. (STEPHEN MAYAMBA)

Cranes omwaka guno yeegyako ekikwa kya myaka 39 bwe yakiika mu mpaka za AFCON 2017 ezali e Gabon. Yali yakoma okwetabamu mu 1978 mu mpaka ezali e Ghana.

Cranes etandise okwetegekera omupiira gwayo okusooka mu z’okusunsulamu mu kibinja L ng’esooka kukyalira Cape Verde nga June 10.

Tanzania ne Lesotho ge mawanga amalala agali mu kibinja era ng’omuwanguzi waakuyitamu butereevu.

Abazannyi bakedde kuyingira nkambi ku wooteeri ya Sky e Naalya abazannyi gye bagenda okusuzibwa nga bwe batendekebwa era nga basuubirwa okusitula ku Lwokuna okwolekera Ethiopia, Cranes gy'egenda okuzannyira ogw’okwegezaamu ne bannyinimu ku Lwomukaaga nga June 3 mu kisaawe kya Hawassa International Stadium mu kibuga Hawassa.

Cranes yaakuva mu Ethiopia boolekere ekibuga Dakar ekya Senegal nawo we bagenda okuzannyira ogw’okwegezaamu ne bannyinimu nga June 6 nga tebannagenda Cape Verde okwetegekera omupiira gw’okusunsulamu ne bannyinimu mu kibuga Pria.

Cameroon y'egenda okutegeka empaka za AFCON 2019 era nga Cranes teyagala kuddamu ku kalindirira kumala bbanga ddene nga bwe gwali.

Enteekateeka ya Cranes mu bujjuvu;

Egy’okwegezaamu;

June 3, 2017: Ethiopia - Uganda Cranes

June 6, 2017: Senegal - Uganda Cranes

Ez’okusunsulamu za AFCON 2019 qualifier (kibinja L):

June 10, 2017: Cape Verde - Uganda Cranes 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...