TOP

Ssekandi awadde ab'amaato akamwenyumwenyu

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2017

OMUMYUKA wa Pulezidenti w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi aleese abavuzi b’amaato akaseeko ku matama bw'alagidde omuzannyo gussibwe kw’egyo eginaakirira Uganda mu mizannyo gya Olympics e Japan.

Dragonboat6 703x422

Amyuka Pulezidenti w'eggwanga Eddward Kiwanuuka owookusatu okuva ku kkono. Ate amuddiridde ye Minisita w'eggwanga ow'Ebyobulambuzi, Kiwanda Suubi wamu n'abakungu okuva e China nga baggulawo mu butongole empaka za Dragon Boat e Ntebbe. Ekif-Fred Kisekka.

Ssekandi bino yabyogedde aggalawo empaka za ‘Dragon Boat’ ezaabumbigidde ku Wild Life Centre Entebbe ku Ssande n'agamba nti amaato gasaanye okuweebwa enkizo mu mizannyo gya Olympics eginaabaawo mu 2020 e Japan kubanga gaggyayo ekifaananyi ekituufu ku mizannyo gya Uganda ginnansangwa.

“Tugenda kusoosoowaza omuzannyo guno kubanga tegukoma kutunda byabuwangwa byaffe wabula gwe gumu kw’egyo egyatandikibwawo bajjajjaffe,” Ssekandi bwe yagmbye.

Ye Minisita w'eggwanga ow'Ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Suubi yafaraasidde Bannayuganda bongere obuwagizi bwabwe eri omuzannyo gw’amaato kubanga kyabulambuzi eri eggwanga.

Ttiimu 15 ze zeetabye mu mpaka zino ezaawanguddwa A-One okuva e Jinja ng’abavuzi abaasobye mu 300 be baazeetabyemu.​

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda