TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omutindo gwa Miya ne Allan Okello gucamudde omutendesi Micho

Omutindo gwa Miya ne Allan Okello gucamudde omutendesi Micho

By Moses Kigongo

Added 31st May 2017

Omutindo gwa Miya ne Allan Okello gucamudde omutendesi Micho

Yu1 703x422

Farouk Miya ku ddyo ng'alwanira omupiira

OMUTINDO musaayimuto wa Cranes  Allan Okello ne Farouk Miya gwe baayolesezza nga bazannyamu  omupiira gw'okwegezaamu ne ttiimu ya Cocacola ennonderere gucamudde abawagizi.

Kino kidiridde Okello okuteeba ggoolo 2 nga Cranes ettunka ne  Cocacola ku kisaawe e Lugogo ekintu ekyacamude abawagizi ne basaba omutendesi wa ttiimu eno Micho okutandika okumulowoozako.

Mungeri yeemu ne Farouk Miya omu ku bazannyi ba Cranes Micho kwasibidde olukoba yacamudde abawagizi bakira buli lwe yabaddenga akwata omupiira.

 

Miya bakira asala abazannyi abenjawulo okubula okubamalawo ng'eno bwakuba paasi ezomutawaana ekintu ekyazizaamu abawagizi ba Cranes essuubi ne bawera nti Capeverde yakukubwa ggoolo eziwerako bwenabeera ettunka ne ttiimu yaabwe mu mpaka z'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z'Afirika e Cameroon.

Wadde nga Miya yabade azannyira mu bamusaayimuto ba Cocacola kyokka ebintu bye yabade akolera ku mupiira nga biraga enjawulo yamaanyi ku bazannyi ba Cranes abalala abasoose okuttunka ne  ttiimu yemo mu kitundu ekisooka.

Omupiira gye gwaggweredde nga Cranes ennonderere eguwangudde ggoolo 6-1.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...