TOP

Balwanira fayinolo mu liigi y'abakazi

By Stephen Mayamba

Added 31st May 2017

Balwanira fayinolo mu liigi y'abakazi

Bak1 703x422

Uganda Martyrs Lubaga – UCU Lady Cardinals; ssaawa 7.30Kawempe Muslim – Olila Women FC
 
KIGENDA kubeera kijjobi e Lugogo mu maka ga kirabu ya KCCA FC baanabawala  boolesa ekitone ku kucanga akapiira mu lutalo lw’okwesogga fayinolo mu kakungunta ka ‘Play-offs’ akakomekkereza liigi y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi eya FUFA Women Elite League.
 
Bakyampiyoni ab’emyaka ebiri egiyise aba Kawempe Muslim nga badduumirwa omuzannyi w’omwaka 2016 omukazi Hasifa Nassuuna battunka ne Olila Women FC ey’e Soroti eyamalidde mu ky’okubiri mu kibinja kya Victoria. Kawempe eyamazeko sioni eya bulijjo ng’ekulembedde ekibinja kya Elizabeth n’obuboneroo 36  okuva mu mipiira 12.
 
Tekubiddwamu yadde okukola amaliri ne baddirirwa UCU Lady Cardinals eyakung’aanyiza obubonero 23.Mu mupiira omulala era ogusookawo Uganda Martyrs Lubaga abakulemebedde ekibinja kya Victoria bagenda kulya matereke ne UCU Lady Cardinals eyakutte eky’okubiri mu kibinja kya Kawempe.
 
Nassuuna ye yasinze abateebi ne ggoolo 24.Abawanguzi b’emipiira gya leero bakukwatagana ku fayinolo ku  Sande nga June 4 okufunako kyampiyoni wa liigi y’eggwanga omupya.
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja