Ssenoga yakutte kyakubiri mu mpaka za Mr. Kampala ezaawanguddwa Isaac Mubikirwa ku Grand Global Hotel e Makerere mu Kampala ze yagambye nti zaamuyambye nnyo okwetegekera empaka zino.
Yasoose kuwangula mutendera ogw’abasajja abali wakati wa 181cm ne 185cm n’oluvannyuma n’awangula ez’akamalirizo ezeetabiddwaamu abazannyi okuva mu mawanga ag’enjawulo.
Guno mwaka gwakubiri ogw’omuddiring’anwa ng’awangula empaka zino era akakasizza nti agenda kwongera okuwangula empaka z’ensi yonna z’aneetabamu.