TOP

Cranes egenze Ethiopia kuzannya gwa kwegezaamu

By Stephen Mayamba

Added 1st June 2017

Uganda Cranes mu ttuntu lwa leero esitudde okwolekera Ethiopia okwetegekera omupiira gwayo ne bannyinimu ogw’omukwano ogumu kw'ebiri gy’egenda okuzannya nga tennasisinkana Cape Verde gy’ekyalira ku Lwomukaaga olujja nga June 10.

Cranes06 703x422

Abazannyi ba Cranes ku kisaawe Entebbe bwe babadde bagenda okusitula okugenda e Ethiopia okuzannya ogw'omukwano ku Lwomukaaga. (STEPHEN MAYAMBA)

Cranes ezannya Ethiopia ku Lwomukaaga nga June 3 mu Hawassa International Stadium mu kibuga Hawassa oluvannyuma yeeyongereyo e Senegal gy'egenda okuzannyira omupiira gwayo ogw’okubiri ne bannyinimu ku Lwokubiri nga June 6, mu kibuga Dakar olwo eryoke eyolekere Cape Verde.

Cranes eri mu kibinja L ne Tanzania, Lesotho ne Cape Verde gy'eggulawo  mu z’okusunsulamu z’empaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo ez’okubeera e Cameroon mu 2019.

Akulembera ekibinja ayitamu butereevu.

Abazannyi abatwaliddwa;

Abakwasi ba ggoolo: Ismail Watenga  ne Said Keni  ate abazannya mu maaso kuliko;  Nicholas Wadada, Murushid Juuko, Hassan Wasswa Mawanda , Godfrey Walusimbi , Savio Kabugo, Aucho Khalid, Deus Bukenya, M artin Kizza, Robert Kakeeto, Bernard Muwanga, Emmanuel Okwi, Nelson Senkatuka, Muhammad Shaban, Milton Kariisa ne Faruku Miya.

Crizestom Ntambi azannyira e Ethiopia bakumusangayo so nga omukwasi wa ggoolo Denis Onyango n’abazannyi ba KCCA FC ttiimu bakugisangayo e Ethiopia ku Ssande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.