TOP

Omuzimbi w'emifumbi amezze KCCA ku buzannyi bwa May

By Silvano Kibuuka

Added 5th June 2017

Omuzimbi w'emifumbi amezze KCCA ku buzannyi bwa May

Miv1 703x422

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA) balonze bannabyamizannyo bataano abazze banywa mu bannaabwe akendo okuviira ddala mu mwezi gwa January nga babalonze mu lutuula lumu olubadde ku Imperial Royale Hotel mu Kampala.

Mu kulonda kuno abazannyi basatu bayiseemu nga tebavuganyiziddwa nga kwe kuli kiraabu ya Basketball eya City Oilers eyakuba Betway Power ku mizannyo 4-1 okuwangula liigi y’eggwanga eya sizoni ya 2015/16 eyakomekerezeddwa mu January 2017.

Abalala abaayiseemu nga tebavuganyiziddwa ye muddusi omuto Jackob Kiplimo eyawenyuka e Kololo mu misinde gy’ensi yonna egya ‘World Cross Country’ ng’ono yawangula omudaali gwa Zaabu mu bali wansi w’emuaka 18 n’acamula ne Pulezidenti Yoweri Museveni wamu ne mukyalawe Janet Kataha Museveni abamu ku baalaba emisinde egyo.

Omuddusi omulala Robert Chemonges eyawangula emisinde gya Marathon e Girimaani mu mwezi gwa April naye alondeddwa nga tavuganyiziddwa ku mwezi ogwo.

Abalondeddwa mu kuvuganya ne ye kiraabu y’ebikonde eya KCCA ewangudde omuvuzi wa mmotoka z’empaka Omar Mayanja ne Hussein Mukuye amusomera maapu ku bululu 480 ku 430 n’etwala omwezi gwa February.

Omwezi gwa May gwe gusinzeemu okuvuganya ng’omuzimbi w’akanyama Andrew Sennoga awangudde kiraabu ya KCCA ku bululu 365 ku 360 olwo abasambi b’omupiira mu Jinja SSS ababadde bavuganya olw’okuwangula empaka za Copper Coca Cola eza 2017 ne bakwata kyakusatu ku bululu 340.

KCCA FC ebadde evuganya lwa kuwangula liigi ya Azam Super League ate nga Sennoga yawangudde empaka za Germany Natural Body Building Championships nga May 21.

Pulezidenti wa USPA Sabiiti Muwanga ategeezezza nti entuula za USPA – Nile Special zaakutulanga buli mwezi okulonda omuzannyi w’omwezi oguyise ate abawanguzi ba bekolerwa akabaga buli luvannyuma lwa myezi esatu.

Muwanga era akwasizza bannamawulire abeetaba mu musomo gw’omuzannyo gwa Badminton satifikeeti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda