TOP

Cranes ne Cape Verde ku minzaani

By Hussein Bukenya

Added 10th June 2017

Ku bazannyi 19, Micho Sredojevic, atendeka Cranes b’alina mu nkambi, 10 bokka be bapulofeesono ng’abasigadde bazannyira waka ekitegeeza nti ttiimu ya Micho egenda kusinga kwetooloolera ku bamusaayimuto abatalina bumanyirivu mu mpaka zino sso nga Cape Verde, abazannyi baayo bonna 21 bazannya gwa nsimbi.

Miya1 703x422

Aba Cranes nga bajaganyiza ggoolo ya Farouk Miya ku Congo Brazzaville.

Leero (Lwamukaaga) Cranes ettunka ne Cape Verde mu mupiira gwe yeetaaga okuwangula.

 akukubidde ttooci mu nsiike eno. Emirundi 10 egisembyeyo nga Cranes eggulawo kampeyini y’okusunsulamu abalizannya empaka z’Afrika, ewanguddeko 8 kyokka ng’eky’enjawulo, gyonna gibaddenga waka.

Ebiri egibadde ku bugenyi (mu 2013 ne Congo Brazzaville) ne (2015 ne Madagascar) bagikubye (3-1 ne 2-1).

Omulundi guno era Cranes etandikidde ku bugenyi ne Cape Verde mu mupiira gwe yeetaaga okuwangula okutandika obulungi kampeyini y’okuddayo mu mpaka z’Afrika eza 2019 e Cameroon.

Omupiira guno ttiimu zombi zigwetaaga okuguwangula kuba buli emu erwana kuva mu kibinja.

Okutuukiriza kino, buli mutendesi yayungudde ttiimu gy’alinamu essuubi okumuwa obuwanguzi.

Ku bazannyi 19, Micho Sredojevic, atendeka Cranes b’alina mu nkambi, 10 bokka be bapulofeesono ng’abasigadde bazannyira waka ekitegeeza nti ttiimu ya Micho egenda kusinga kwetooloolera ku bamusaayimuto abatalina bumanyirivu mu mpaka zino sso nga Cape Verde, abazannyi baayo bonna 21 bazannya gwa nsimbi.

Ng’oggyeeko ekyo, Cranes yazzeemu buto okuzimba ttiimu okuva kw’eyo eyazannye empaka z’Afrika ezaabadde e Gabon, ate Cape Verde ku bazannyi 21 kuliko 15 be yali nabo mu z’Afrika ez’akamalirizo mu 2013.

Kitegeeza nti wano Cape Verde esinga ku Cranes obumanyirivu. Cape Verde etendekebwa munnansi waayo Lúcio Antunes era ye yagitwala mu z’Afrika wa 2015 okufaananako ne Micho eyatutte Cranes e Gabon kyokka ye si Munnayuganda.

Ttiimu zombi, abazannyi be zaayungudde ani alina enkizo ku munne mu buli kitongole mw’abo abasuubira okutandika?

1. Denis Onyango ne Josimar Dias; Mu byonna Onyango asinga ku Josimar kuba alina obumanyirivu.

Josimar akwatira mu AEL Limassol eya Cyprus kyokka omutindo gwe ng’ali mu ggoolo ya Cape Verde tegubadde mulungi kuba yalemeddwa okutwala ttiimu ye mu z’Afrika eziwedde.

Onyango wadde yaddiriddemu mu ttiimu ye eya Sundowns, y’asinga mu Afrika.

2. Nicholas Wadada ne Fernando Varela: Omuzibizi Varela alina obumanyirivu okusinga Wadada kuba yaakazannya ez’akamalirizo emirundi 2, 2013 ne 2015 era nga yaakazannyira Cape Verde emipiira 41 ne ggoolo 3. Azanniyira mu PAOK eya Greece. Wadada yaakazannyira Cranes emipiira 24 ekiraga nti obumanyirivu butono wabula ekirungi kye mumalirivu ate agenda bulungi mu maaso.

3. Godfrey Walusimbi ne Tiago Almeida; Tiago ali mu Moreirense eya Portugal kyokka mupya mu ttiimu y’eggwanga kuba yaakagizannyira emipiira

3. Walusimbi mu kaseera kano y’omu ku basinga obumanyirivu mu Cranes era ky’akola akitegeera. Wano Walusimbi asinga ku Tiago kuba talina bumanyirivu kyokka obuzibu bwe (Walusimbi) abadde aludde okuzannya nnamba ssatu.

4. Murushid Juuko ne Admilson Estaline Gege: Bano balina bye baafanaganya kuba bombi baakazannya ez’Afrika mulundi gumu. Gege azannyira mu Arouca eya Portugal era yaakazannya emipiira 25 ate Juuko alina 23 ku Cranes. Juuko aduumira bulungi ekisenge era okuva lwe yatandika okuzannyira Cranes bagiteeba ggoolo ntono. Gege asinga bumanyirivu naye omutindo Juuko asingako.

5. BEnard Muwanga ne Macedo Babanco; Azannyira mu Estoril eya Portugal era ye kapiteeni wa Cape Verde. Wano Babanco asinga Muwanga mu byonna kuba y’akyasinze n’okuzannyira Cape Verde emipiira emingi (43) ku bazannyi abaliwo. Muwanga guno gwe mupiira gw’ayinza okutandikirako mu ttiimu enkulu ate nga n’omutindo gwe tegubadde mulungi mu liigi. Babanco yaliyo mu z’Afrika wa 2013.

6. Hassan Wasswa ne Marco Soares; Marco y’asinga obukulu mu Cape Verde (32) era ez’Afrika eza 2015 yaliyo, yaakazannya emipiira 32 ng’ali mu AEL Limassol eya Cyprus. Wasswa naye aludde ku Cranes kuba yaakagizannyira emipiira 60 ennaku zino Wasswa yalinnyisa omutindo era mu kaseera kano Cranes emwesigamyeko nnyo. Wano Wasswa asingako kuba amanyi n’okuduumira amakkati.

7. Emma Okwi ne Garry Rod rigues: Ono ali mu Galatasaray eya Turkey. Mu kaseena kano y’atambulirwako ttiimu ya Cape Verde olw’omutindo omulungi. Mu mipiira 18 alinamu ggoolo 2 kyokka ng’ebyafaayo bya ttiimu eno biraga nti ggoolo ezisinga ttiimu eno z’eteeba azibeeramu n’omukono. Okwi abadde ku ffoomu mu Villa. Alina obumanyirivu kyokka omutindo gwe ku ttiimu y’eggwanga gukyagaanyi okulinnya. Alina sipiidi, asobola okusala kyokka ekizibu kye ayagala nnyo okwemalirira wadde ng’abeera mu kifo ekitali kirungi.

8. Khalid Aucho ne Nuno Rocha; Aucho y’omu ku basiniya ba Cranes, yaakagizannyira emipiira 32. Akuba ennyanda n’okukuba paasi ezisobola okuvaamu ggoolo. Rocha ali mu CSU Craiova eya Romania kyokka talina nnyo bumanyirivu ku ttiimu eno. Yaakagizannyira emipiira 10 gyokka nga talinaamu ggoolo ate Aucho alina 3.

9. Derrick Nsibambi ne Júlio Tavares: Guno gwe mupiira Nsibambi gw’ayinza okusooka okuzannyira Cranes. Abadde ku mutindo mu KCCA kuba agiteebedde ggoolo z’obuvunaanyizibwa eziwera kyokka Cranes eyeegezezzaamu ne Senegal e Dakar ku Mmande ekiro. talina bumanyirivu mu Cranes. Julio ogw’ensimbi aguzannyira mu Dijon eya Bufalansa. Naye akyali mupya ku ttiimu y’eggwanga kuba yaakagizannyira emipiira 15 n’agiteeberamu ggoolo 2. Wadde nga Nsibambi muteebi mulungi naye eky’okuba omupya ku ttiimu kiwa Tavares enkizo.

10. Farouk Miya ne Sérgio Semed: Omuwuwuttanyi Semed mupya ku ya Cape Verde kuba yaakagizannyira emipira 5 gyokka ng’ate talinaamu ggoolo. Miya alina ggoolo 19 mu mipiira 43. Miya asinga ku Semed kuba alina obumanyirivu ate ng’azannya ennamba ez’enjawulo. Asobola okuzannya nga omuteebi ate oluusi ng’omuwuwuttanyi.

11. Isaac Muleme ne Ze Luis: Ku ggoolo 4, Cape Verde ze yateebye mu mipiira gy’omukwano (Luxembourg ne Sao Tome), Ze Luis alinako 2. Ogw’ensimbi aguzannyira mu Spartak Moscow eya Russia ate Muleme ali mu KCCA kyokka Cranes enkulu abadde tagizannyirangako era guno gwe guyinza okusooka. Bw’ogattako okuba nti Muleme si muzannyi wa mu maaso (amanyiddwa mu nnamba 3), kiwa Ze Luis enkizo.

Abalala Micho b’asobola okutandisa;

l Timothy Awany (mu kisenge wakati)

l Geoffrey Sserunkuuma (ku kyoto)

l Robert Kakeeto (mu makkati)

Abalala; B. Ochan, Ismael Watenga, Denis Okot ne Muhammad Shaban.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.