TOP

Messi aguze wooteri galikoleka

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2017

EMBIRANYE ya Lionel Messi owa Barcelona ne Cristiano Ronaldo (Real Madrid) eyongedde okulinnya, Messi bw'ayingidde bizinensi ya wooteeri Ronaldo gye yamusooka.

Messi1 703x422

Messi (ku ddyo) ng'attunka ne Ronaldo mu El Clasico.

Bya Musasi waffe

EMBIRANYE ya Lionel Messi owa Barcelona ne Cristiano Ronaldo (Real Madrid) eyongedde okulinnya, Messi bw'ayingidde bizinensi ya wooteeri Ronaldo gye yamusooka.

Kino kyaddiridde Messi okugula wooteeri amakula eyitibwa Mim Sitges ng'esangibwa mu Spain ku bukadde bwa pawundi 26 (eza wano 119) ng'ayita mu kkampuni ya Rosotel gye yatandiseewo okutambuza bizinensi ze eza wooteeri n'ennyumba.

Wooteeri Messi gye yaguze, erina ebisenge 77 ng'okusulamu olunaku olumu, osasula ensimbi eziri wakati wa pawundi 220 ne 260 (1,007,362/- ne 1,190,518/- mu za Uganda).

 ooteeri essi gye yaguze obuwumbi 119 Wooteeri Messi gye yaguze obuwumbi 119.

 

Ronaldo, yayingira bizinensi ya wooteeri mu 2015 nga kati alina eziwerako mu kibuga Madeira ne Lisbon ebya Portugal.

Ku lukalala lw'abagagga olwafulumiziddwa akatabo ka 'Forbes Magazine', Ronaldo y'akulembedde mu bannabyamizannyo abasinga okuyingiza ssente n'obukadde bwa doola 93 ( obuwumbi obusoba mu 334) ate nga Messi ali mu kyakusatu n'obukadde bwa doola 80 (obuwumbi obusoba mu 287).

 bbaala eri ku wooteeri ya essi Ebbaala eri ku wooteeri ya Messi

 

Bano bombi bazze bavuganya mu bintu eby'enjawulo omuli ebikopo n'engule y'omuzannyi asinga nga kati Ronaldo anoonya Ballon d'Or yaakutaano yenkanye Messi z'alina.

 ooteeri ya onaldo eri mu kibuga isbon ekya ortugal Wooteeri ya Ronaldo eri mu kibuga Lisbon ekya Portugal.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda