TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Musagala ali ku ffoomu: Akoze likodi y’eggwanga empya mu mmita 1500

Musagala ali ku ffoomu: Akoze likodi y’eggwanga empya mu mmita 1500

By Teddy Nakanjakko

Added 12th June 2017

RONALD Musagala ayongedde okulaga foomu ye n’okukakasa nti mwetegefu okuwanirira bendera ya Uganda mu mpaka z’ensi yonna eza IAAF World Championships ezinaayindira mu kibuga London ekya Bungereza mu August.

Aaaaaaabig703422 703x422

Musagala ng'ali mu nsiike gye buvuddeko

Ku Ssande mu mpaka za FBK games mu Hengelo ekya Budaaki, yakoze likodi y’eggwanga empya mu mmita 1500 nga zino yaziddukidde 3:33.65 nga yamenyewo ye kennyini gye yateekawo omwaka oguwedde eya 3:35.03 mu kibuga ky’ekimu ekyo.

Sizoni eno ng’etandika, Musagala omu ku baddusi abaakiikirira Uganda mu mpaka za IAAF World Cross Country ezaali mu kisaawe e Kololo yategeeza nga bw’atunuulidde okutuusa obudde obwetaagisa mu z’e London era nga kino yakituukiriza ku ntandikwa y’omwezi guno e Bufalansa, okumyenyawo likodi y’eggwanga kye yatuukiriza ku Ssande.

Mu mpaka z’ezimu Jacob Araptany (mmita 3,000SC) ng’ono yawangulira Uganda omudaali gw’ekikomo mu z’ensi yonna ez’abato ne Moses Kurong(mmita 10,000) baatuusizza obudde obwetaagisa mu mpaka z’e London nga bawezezza omuwendo gw’abaddusi abaakatuusa obudde 13.

Abalala kuliko Robert Chemonges (Marathon), Peruth Chemutai(3,000SC), Mercyline Chelengat (5,000) , Juliet Chekwel (10,000), Stephen Kiprotic, Solomon Mutai ne Alex Chesakit (Marathon) be baakayitawo okubeera ku ttiimu eno. Mu balala mulimu Jacob Kiplimo(5,000), Ronald Musagala (1500), Joshua Cheptegei ne Timothy Toroitich (10,000). Ends

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...

Re1703422 220x290

Ofiisi ya Sipiika evuddeyo ku bulwadde...

MUNNAMAWULIRE wa Kadaga, Sam Obbo yategeezezza nti Sipiika yaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Nakasero oluvannyuma...