TOP

Abavuga mmotoka z'empaka bayiiseemu obukadde 100

By Nicholas Kalyango

Added 15th June 2017

NG'ABAVUZI ba mmotoka z’empaka beetegekera okwabika mu mpaka za 'Pearl Of Africa Rally' ku nkomerero y’omwezi guno, ekibiina ekitwala omuzannyo guno (FMU) kikubiddwa enkata.

Kwasa 703x422

Assi (ku ddyo) ng'akwasa Blick ceeke. Ku kkono ye; Pulezidenti wa FMU, Dusman Okee, ng'addiriddwa Noella Blick asomera Blick maapu.

Kkampuni ya Shell, ebawadde obukadde 100 bategeke empaka zino ku mutindo gw’ensi yonna.

“Pearl of Africa mpaka za maanyi, era twagala Uganda ezitegekere ku mutindo gw'ensi yonna ereme kuswala,” Gilbert Assi, akulira Shell bwe yategeezezza ng'awaayo ceeke eggulo ku ssundiro ly'amafuta ga Shell e Bugoloobi.

Empaka ze zisinga okuba ez’amaanyi ku kalenda y’engule ya Uganda (NRC) era nga ziri ne ku kalenda y’engule y'Afrika (ARC) ekulembeddwa Munnakenya Jaspreete Chatthe n’obubonero 30.

Abavuzi okuva mu mawanga okuli; Uganda, Burundi, Zambia, Kenya, Tanzania, Belgium ne Rwanda be basuubirwa okwetaba mu mpaka zino ezigenda okumala ennaku ebbiri nga zitolontoka mu bitundu by’e Busiika n’e Kayunga.

Mu kiseera kino, Ronald Sebuguzi y'akulembedde abavuzi abalwanira engule y'eggwanga ku bubonero 250.

Addiriddwa Christakis Fitidis (175), Fred Wampamba (175), Duncan Mubiru ne Omar Mayanja nga bombi balina 160.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp1 220x290

Hasan Mubiru asindidde omugagga...

Hasan Mubiru asindidde omugagga Bryn White ebizibu ebyamuggya ku mupiira

Don2 220x290

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga...

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Pub1 220x290

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye...

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Byandala2 220x290

Byandala bamulagidde yeewozeeko...

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza...

Hab1 220x290

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome