TOP

Bugerere ewera kuwumiza Buluuli

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2017

Bugerere ewera kuwumiza Buluuli

Mo1 703x422

Buvuma - Kyaddondo,Maggyo

Busiro - Mawokota,Ssentema

Mawogola - Buddu e Ssembabule

Kabula - Kooki e Lyantonde

Buweekula - Busujju, Kasenyi

Ssingo - Gomba, Mityana

Kyaggwe - Bulemeezi ku Bishop SS

Buluuli - Bugerere e Migyera

OLUZANNYA olwokubiri olw’emipiira gy’Amasaza ga Buganda (Masaza Cup) luddamu leero (Ssande) n’emipiira 8 mu bibinja 4 ku bisaawe eby’enjawulo.

E Buluuli, batabani b’Owessaza Mugerere (Bugerere) bawera nkolokooto nti kakibe ki balina okuggya obuwanguzi kuba ba Kimbugwe (Buluuli) wadde be bakyadde e Nakasongola.

Sabiiti Bukenya, omu ku bakungu ba Bugerere, yagambye nti, “Omusango Kyaggwe gwe yatuwaabira ku bazannyi twaguwuuse buva n’obubonero

3 bwe baali batuggyeeko ne babutuddiza. Buluuli egenda kutuwulira kuba tetuyinza kugikkiriza kweyubulira ku ffe.” Buluuli tewangulangayo mupiira mu mpaka za mwaka guno ng’erina akabonero kamu mu mipiira esatu. Yakubwa Bugerere (2-0) e Ntenjeru, Kyaggwe n’egiwuttula (3-0) sso nga bwe yakyaza Bulemeezi gwaggwa 0-0.

Ssentebe wa Bugerere, Idris Ssesanga naye yagambye nti banonye buwanguzi balinnye ku ntikko y’ekibinja singa Bulemeezi ebulwa obuwanguzi e Kyaggwe.

E Mukono ku kisaawe kya Bishop SS, batabani ba Ssekiboobo (Kyaggwe) baddihhana n’aba Kkangawo (Bulemeezi) abaabakuba (2-1) e Kasana mu gw’oluzannya olusooka. Bulemeezi y’ekulembedde ekibinja n’obubonero 7 ate Kyaggwe erina 3 mu mipiira 3.

E Mityana, batabani ba Mukwenda (Ssingo) bakyazizza aba Kitunzi (Gomba) mu Mityana Ssaza Ground. Omupiira gwesungiddwa olw’embiranyi ya ttiimu zombi. Omutendesi wa Ssingo, Shafiq Bisaso n’abazannyi abamu baasooka mu Gomba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte