TOP

Nakaayi amalidde mu kyakubiri ne yeesogga eza IAAF

By Teddy Nakanjakko

Added 30th June 2017

MUZZUKULU wa Kayiira omuzirambogo Halima Nakaayi essanyu lyalina kati likirako lya mwoki wa gonja anti nga lino yalifunidde mu kibuga Barcelona ekya Spain ku Lwokuna akawungeezi.

Nassiwa1703422 703x422

Halima Nakaayi

800m (bakazi)

1 Rose Mary Almanza (cub) 2.00.24;

2 Halimah Nakayi (uga) 2.00.80;

3 Esther Guerrero 2.01.65;

1500m

1 Esther Chebet (uga) 4.08.15;

2 Fatwa Sidi Madane (mar) 4.08.84;

3 Selah Busienei Jepleting (ken) 4.09.57

Nakaayi yazzeeyo mu Barcelona gye yalemwa okuwangula omudaali mu mpaka z’emisinde gy’ensi yonna egya Junior mu 2012 nga ku luno yatuusirizzaayo obudde obwetaagisa okwetaba mu z’ensi yonna eza IAAF World Athletics Championships ezinaayindira mu kibuga London mu August w’omwaka guno.

Yabadde mu misinde gya mmita 800 mu mpaka za  Catalonia Open Championships nga zino yaziddukidde eddakiika 2:00.80 n’amalira mu kifo kyakubiri emabega wa Rosemary Almanza owa Cuba.

Nga bano baabadde mu budde obwetaagisa mu z’ensi yonna obwa 2:01.00.

Nakaayi yeegasse ku baddusi abalala abaakatuusa obudde okuli  aba Marathon: Robert Chemonges , Stephen Kiprotich , Alex Chesakit, Mutai Solomon, ne Jackson Kiprop 

Peruth Chemutai - 3000mSC

Chelengat Mercyline - 5000m

Chekwel Juliet  - 10,000m

Joshua Cheptegei  - 10,000m

Toroitich Timothy - 10,000m

Araptany Jacob  - 3000mSC

Moses Kurong 10,000m

Ronald Musagala – 1500m

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso