TOP

Engoye ze nnyambala nzetungira ne nnyuma

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2017

DYNAVENCE Ruvuza, 26 nga mutuuze we Najjeera y’omu ku bawala mu Kampala abalabika obulungi newankubadde mukyala muzadde wa baana babiri.

Dyna1 703x422

Dyna Vence

Bya SHAKIRA NAKATO

DYNAVENCE Ruvuza, 26 nga mutuuze we Najjeera y’omu ku bawala mu Kampala abalabika obulungi newankubadde mukyala muzadde wa baana babiri.

Agamba nti buli muwala ne bw’aba azadde, talina kukkiriza mubiri gwe kwonooneka asobole okusigala ng’alabika bulungi era ng’asikiriza.

Ruvuza ye nnannyini dduuka lya Dynavence Couture era nga mutunzi wa biteeteeyi by’abagole n’engoye endala eza bulijjo.

Agamba nti yeemanyi bulungi ffiga ye era y’ensonga lwaki yettanira obuteeteeyi obumpi obumukwata.

Agattako nti wadde atunga ngoye si nti buli lugoye lw’ayambala nti alwetungira. Alina z’agula naye nga ziri ku mulembe.

 

FFIGA

Neewala okumala galya buli kimu. Ewange emmere egezza toyinza kugisangayo. Ennyama tugirya lwalumu era tulwawo okugifumba awaka.

Ekirala nyiikira okutambula naddala nga noonya matiiriyo z’engoye za bakasitoma.

Kino nakyo kinnyamba okukozesa omubiri ne gutagajja nnyo. Ebyokulya byange ebiseera ebisinga mbyefumbira awaka ne mbireeta ku mulimu.

Kuno kwe ngatta okunywa amazzi agawera buli lunaku. Ebyokunywa ebirimu sukaali nabivaako era ne sukaali sikyamunywa.

ENVIIRI

Ntera kusiba obuviiri bwa ‘human’ kuba buba bwangu okulabirira. Osobola okukanaabamu ne kanyirira, era n’okateekamu omusono gwonna gw’oyagadde, oluusi ekitabeerawo ku buviiri obulala.

FFEESI

Simala geesiiga buli kye nsanze era ebiseera ebisinga seekolako nnyo mu ffeesi.

Nteekako ka lipusitiiki katonotono nga ηηenda okukola. Njagala nnyo ffeesi yange ebeere nga essa olwo bwe ntuuka okwekolako ‘mekaapu’ ng’akwata bulungi ku lususu lwange.

Ntera okwekolako nga nnina omukolo naddala embaga oba okwanjula.

 

ENGATTO

Ntera kwambala engatto za fulaati olw’okuba oluusi mba nnina okutambula okumala ebbanga eddene.

Zino zinnyamba okwetaaya obulungi nga sifunye buzibu bwonna, nga bwe kiba nga nnyambadde obukondo obuwanvu.

Wabula obukondo obuwanvu mbwambala nga ninayo omwoleso naddala nga njolesa engoye ze ntunga oba nga nninayo omukolo omulala.

ENSAWO

Ndi muntu wa ‘cross bags’ lwa nsonga ne bwemba nkola emirimu gyange kinnyanguyira okugyambala n’etenkaluubiriza kubanga eyinza okumbulako. Ntera okukyusa nga ηηenda ku mukolo ate awo nkwata kasawo katono ak’omu ngalo.

ENJALA

Enjala zo nzisiiga “cutex” era newankubadde mbeera bbize nfuba okuzikuuma nga zinyirira era muggy-ako oluvannyuma lwa wiiki emu nga bwemba sifunye budde busiiga njala nzirekerawo kuba enjala zange nazo si mbi nakamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba