TOP

Cranes yeesozze enkambi okwetegekera eza CHAN

By Silvano Kibuuka

Added 2nd July 2017

Ttiimu ya Cranes ey’abasambi abasambira awaka egenda okwetaba mu mpaka za Africa eza CHAN etandise okutendekebwa e Namboole.

Craneschantrainjuly1bukeddeweb5 703x422

Omutendesi wa Cranes Sredejovic Micho ng'aliko by'annyonyola abazannyi oluvannyuma lw'okutendekebwa e Namboole mu kisaawe ky'ebweru, July 1 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Absambi 22 be beetabye mu kutendekebwa kuno eggulo ku Lwomukaaga okwetegekera South Sudan gy’ebagenda okukyalira mu luzannya olusooka olw’okusunsulamu abanaazannya egy’ekibinja.

Cranes eno egenda kusookera Kabale ku nkomerero ya wiiki ejja mu luzannya lwa Cranes na Mutima nga tennagenda South Sudan.

Micho ategeezezza nti okutendekebwa kuno akutaddemu n’abasambi abali mu Cranes abasambira ebweru abali mu luwummula okuli Hasaan Wasswa, Mulshid Juuko ne Denis Iguma ng’atunuulidde n’omupiira gw’okusunsulamu abalizannya World Cup y'e Russia omwaka ogujja.

Ttiimu eno yaakutendekebwa buli lunaku okutuusa lw’eneesitula okugenda e South Sudan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.