TOP

Sijja kunyooma South Sudan - Micho

By Hussein Bukenya

Added 4th July 2017

WADDE nga liigi y’eggwanga ewezezza omwezi mulamba ng’ekomekkerezeddwa, omutindo gw’abazannyi abali ku Cranes guwadde omutendesi Micho Sredojevic essanyu.

Cranescoachmichotalkstoplayersintrainingatkccaplaygroundsinlugogoonmonday2 703x422

Abazanyi ba Cranes nga bali mu kutendekebwa gye buvuddeko

July 8 mu Regional Tour: Western Region - Cranes

Ttiimu eno eyeetegekera okukyalira South Sudan nga July 14 mu mpaka z’okusunsulamu abalizannya CHAN, yaakamala ennaku ssatu ng’etendekebwa mu kisaawe e Namboole. 

Micho agamba nti abazannyi abadde abasuu
bira okuba ku mutindo ogw’ekibogwe kyokka bamwewuunyisizza olw’omutindo omulungi gwe baliko. 

“Kizzaamu amaanyi okulaba nga buli muzannyi akola na maanyi okusigala ku ttiimu. Kino kyakunnyamba okufuna abazannyi abasobola okuvuganya obulungi ne ttiimu endala,” Micho bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti bangi South Sudan bagiraba nga ttiimu ennafu naye si kituufu kuba nayo omupiira gwayo gweyongedde okukula.

Micho, alina abazannyi 28 mu kutendekebwa nga kuliko 4 bapulo (abatakkirizibwa kuzannya CHAN) okuli; Hassan
Wasswa, Murushid Juuko, Denis Guma ne Khalid Aucho.

Bano yagambye nti abateekateekera gwa Misiri nga August 28 mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup y’omwaka ogujja.

Simon Sserunkuuma, eyaakeegatta ku SC Villa, abadde aludde okuyitibwa ku ttiimu eno y’omu ku baasinze okukola obulungi mu kutendekebwa.

Nga Cranes tennagenda mu South Sudan, yaakusooka kuzannyamu ne  ttiimu ennonderere mu ligyoni ya Western nga  July 8 mu Kabale Municipal Stadium.

Omupiira guno Micho agamba nti gw’agenda okufuniramu ttiimu gy’atwala e South Sudan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.