Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga kisoma nti;
“Obwakabaka bwa Buganda bukungubagira nnyo Owek. John Ssebaana Kizito era olw’okusiima obuwereeza bwe, Ssabasajja Kabaka asiimye omupiira ogw’empaka ez’ebika ogubadde ogw’okuggulwawo ku Lwomukaaga nga 8/7/2017 wakati w’Embogo n’Engeye e Kyaggwe, gujjululwe, guzzibwe ku Ssande nga 9/07/2017.”
Mayiga abadde e Bulange- Mmengo ategeezezza nti olw’okujjukira obuweereza bw’omugenzi eri Nnamulondo n’Obwakabaka, bbendera z’Obwakabaka zijja kwewuubira mu makkati g’emirongooti ku lunaku lw’anaaziikibwa- ku Lwomukaaga 8/7/2017 mu Buganda wonna.
Katikkiro Mayiga yagambye nti;
“Obwakabaka bujja kukungubagira Owek. Ssebaana mu ngeri ey’enjawulo mu lutuula lw’olukiiko ku Lwokusooka lwa wiiki ejja nga 17/7/2017.
Twebaza omugenzi olw’obuwereeza eri Ssaabasajja Kabaka ne Buganda yonna okutwalira awamu.
Omugenzi anajjukirwanga nnyo olw’obwesimbu, okunywerera ku nsonga awamu n’obutakoowa. Tusaba Katonda agumye ab’omunnyumba ye ate n’omwoyo gwe aggulamuze kisa.”