TOP

Cranes ya CHAN erumbye Kabale

By Silvano Kibuuka

Added 7th July 2017

Ttiimu ya Cranes egenda okwetaba mu mpaka za CHAN eza Africa ez’abazannyi abasambira awaka bokka esitudde okugenda e Kabale mu mupiira ogw’omukwano n’abasambi mu rigyoni eyo.

Craneschantrainjuly52017bukedde11 703x422

Abasambi ba Cranes ya CHAN oluvannyuma lw'okutendekebwa e Namboole July 5 2017 nga beetegekera South Sudan. (ekif:Silvano Kibuuka)

Ttiimu ya Cranes egenda okwetaba mu mpaka za CHAN eza Africa ez’abazannyi abasambira awaka bokka esitudde okugenda e Kabale mu mupiira ogw’omukwano n’abasambi mu 'rigyoni' eyo.

Ensiitaano ya nkya (Lwamukaaga) mu kisaawe kya Kabale Municipal Stadium mu ssaawa 3:30.

Empiira gya ‘Regional Tour’ gye gimu ku gitegekebwa FUFA okusobozesa Cranes ebeera esemberedde okuvuganya mu mpaka ennene okwegezaamu ate n’okunoonya obuwagizi mu butundu by’eggwanga ebitali bimu.

Enkola eno yatandikawo emyaka ebiri egiyise.

Omutendesi Sredejovic Micho ategeezezza nti abasambi b’atutte be bamu ku bagenda okusamba omupiira gwa South Sudan nga July 14 e Juba mu luzannya olusooka olw’okusunsulamu abanaasamba ez’akamalirizo eza CHAN ezinaabeera mu Kenya omwaka ogujja.

South Sudan yaakukyalira Uganda nga July 22 era ng’anaayitamu waakukwatagana n’anaayitamu wakati wa Rwanda ne Tanzania olwo anaawangula akiike mu za CHAN eza Africa e Nairobi.

Abasambi 23 Micho b’agenze, bano kuliko:

Isma Watenga (Vipers), Saidi Keni (Proline), Tom Ikara (Kirinya/Jinja S.S) Nico Wakiro Wadada (Vipers), Deus Bukenya (Vipers),  Nicholas Kasozi (Synergy), John Adriko (SC Villa), Savio Kabugo (Proline), Bernard Muwanga (SC Villa), Rashid Toha (Onduparaka), Majwega Brian (KCCA FC) Bukenya Lawrence (KCCA FC),  Method Bassey (Mbarara), Shafiq Kagimu (URA),  Tom Matisko (KCCA) Martin Kizza (SC Villa), Simon Sserunkuma (SC Villa), Milton Karisa (Vipers), Erisa Ssekisambu (Vipers), Nelson Senkatuka (Proline),  Shaban Mohamed (Onduparaka), Julius Malingumu (The Saints) ne Solomon Okwalinga (Synergy).

Abapya ku Cranes; Saidi Keni, Tom Ikara, Nicholas Kasozi, Rashid Toha, Method Bassey, Shafiq Kagimu, Nelson Senkatuka, Shaban Mohammed, Julius Malingumu ne Solomon Okwalinga.

Micho ategeezezza nti ttiimu egenda e South Sudan yaakwongeramu abasambi ba KCCA eyagenze e Tunisia mu gw’okudding’ana ne Club Africaine mu gy’ekibinja egya Champions League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.