TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Vally Mugwanya: Owa Bukedde kati maneja wa mupiira n'abayimbi

Vally Mugwanya: Owa Bukedde kati maneja wa mupiira n'abayimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2017

VALLY Mugwanya, munnamawulire wa Bukedde ate era y'akulira emirimu mu SC Villa. RACHEAL TEBANDEKE yamutuukiridde n’amubuulira ku bulamu bwe .

Kola 703x422

Minisita w'emizannyo, Charles Bakkabulindi (ku ddyo) ng'abuuza ku Mugwanya. Mugwanya ne muwala we Mirembe.

BYA RACHEAL TEBANDEKE

Nnazaalibwa mu mu maka g’omugenzi Vincent Mugwanya ne Alice Mugwanya e Makindye Lukuli.

Pulayimale nagisomera Buddo Junior, ate siniya ne nneegatta ku Kings College e Budo ne St. Joseph's Naggalama gye natuulira S6.

Mbeera Munyonyo, nga ndi mufumbo era nnina abaana babiri. Lenon Mugabi ne Trudie Mirembe.

Omupiira nnagutandikira mu pulayimale e Buddo mu 1990, era nguzannye mu masomero gonna gye mpise.

Nazannyirako SCOUL ng'omukwasi wa ggoolo wakati wa 1995 - 1999, era omugenzi Fred 'Giringi' Lukwago, eyali atendeka abakwasi ba Villa, ye yantwalayo.

Mu SCOUL, twali ba mutawaana nga tulina bassita abalala omwali; Julius Oweka, Obecha, Robert Mukasa, Syrus Zimaze, Muhammed Sebuggwaawo, Juma Kayinda, Misusera Katende, David Kiwanuka 'Tiriika', Katembo Musenero, Alex Isabirye n'abalala bangi wansi w'omutendesi Leo Adraa.

Omupiira gwe sigenda kwerabira gwa SCOUL ne SC Villa e Namboole gwe twabulako akatono okuggyamu Villa mu 'Uganda Cup'.

Twazannya nnyo ggoolo ne zitulema mu ddakiika 90, bwe twagenda mu peneti, Villa yalemwa peneti mu ttaano ezisooka kyokka Isabirye eyali alina okututeebera emalamu akagoba, yalemwa okuteeba Hannington Kalyesubula ne tuwandukira ku 'quarter'.

Ekyasinga okunnuma ye Villa okugenda mu maaso mu mwaka ogwo (2000) n'ewangula Military Police ku fayinolo (1-0) e Namboole ekiraga nti osanga tuba kugiggyamu twalina omukisa oguwangula ekikopo.

SCOUL bwe yasalwako mu 'Super', nagenda e Girimaani gye nasomera ebyamawulire.

Bwe namaliriza emisomo, ne nneeyongerayo e Vietnam gye nazannyira ogw’ensimbi okumala emyaka munaana.

Bwe nakomawo era ne nzira mu Villa kuba yandi mu musaayi. Omupiira nguliddemu ebiwera kuba gwansomesa okuva mu pulayimale okutuukira ddala ku yunivasite era gwe gunfudde kye ndi kati.

KU BAZANNYI:

Omugenzi Wilson Gayi, eyasambiranga KCCA ne State House, tetwamufunamu kuba yatuva ku maaso ng'akyali muto, sso nga yalina ekitone.

  • Abazannyi bonna mu Uganda balungi, era mu biseera eby'omu maaso tugenda kukungula ebitone.
  • Omuntu gwe nneegomba mu bulamu bwange ye Hajji Omar Mandela eyali akulira ebyensimbi mu Villa kuba ye yankuza okuva mu buto n’okundabirira mu byetaago by’obuntu wadde nga nasomera ku mupiira.
  • Ng'oggyeeko omupiira, ndi muwandiisi wa byamizannyo mu lupapula lwa Bukedde. Omwaka oguwedde nze natendese ttiimu ya Vision Group efulumya Bukedde, okuzannya 'Uganda Cup' kyokka twakubiddwa Mpigi United ku luzannya lwa ttiimu 64. Mu ngeri y'emu ndi maneja w'abayimbi Radio ne Weasle aba Goodlyf. Byonna mbikwataganya kuba nneeteekateeka bulungi buli kimu ne nkiwa obudde bwakyo.

BWE NFUUKA PULEZIDENTI WA FUFA

FUFA ekyalina omulimu gw'okuzza abawagizi mu kisaawe era singa nfuuka pulezidenti waayo, nkola buli kimu abawagizi ne badda mu bisaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...