TOP

Cranes ne South Sudan battunka

By Hussein Bukenya

Added 14th July 2017

Omupiira guno gwa luzannya lusooka era omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic yategeezezza nti ayagala kuguwangula atangaaze emikisa gy’okugenda ku luzannya oluddako.

Majwega1 703x422

Benard Muwanga ne Brian Majwega aba Cranes ya CHAN

Bya HUSSEIN BUKENYA
 
Leero mu za CHAN South Sudan - Uganda KAMPEYINI ya Cranes,
okugenda mu mpaka za CHAN e Kenya omwaka ogujja, emutandika leero bw’eneeba ettunka ne South Sudan mu Juba Stadium mu kibuga Juba.
 
Omupiira guno gwa luzannya lusooka era omutendesi wa Cranes,
Micho Sredojevic yategeezezza nti ayagala kuguwangula atangaaze emikisa gy’okugenda ku luzannya oluddako.
 
“Wadde tuli ku bugenyi naye twagala buwanguzi era okutuukiriza kino ngenda kusinga kulonda bazannyi balumba.
 
Omupiira gw’okuwanduka gwetaaga kukwasa maanyi nga tutunuulidde maanyi oba bunafu bwa ttiimu gy’ozannya era nange
sigenda kugusaagiramu,” Micho bwe yategeezezza eggulo nga baakatuuka mu kibuga Juba.
 
Ttiimu zino zaakakwatagana emirundi ebiri gyokka ng’ogwasooka baalemagana 2-2 mu gwakozesebwa ng’oguggulawo ekisaawe kino mu 2012 ate era mu mwaka gwe  gumu mu CECAFA, Cranes yawangula 4-0.
 
Awangula mu nzannya zombi waakuzannya anaayitawo ku Rwanda ne Tanzania.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.