TOP

Abeebikonde bayigga nsimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

EKIBIINA eddukanya ebikonde mu ggwanga, ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kikukkuluma olw'ebbula ly'ensimbi ez'okuyamba ttiimu y'eggwanga 'The Bombers'.

Bara 703x422

Okuva ku kkono; Ayiti, Kakande ne Kakeeto, lwe baakyalako mu ofiisi za Bukedde.

Bya Fred Kisekka

The Bombers erina okwetaba mu mpaka za z'ensi yonna, eza World Boxing Championships ez'okubeera mu kibuga Hamburg mu Girimaani, kyokka n'okutuusa kati tennafuna ssente zaakugiyamba kwetegeka.

Omwogezi wa UBF, Fred Kavuma yagambye nti baali bategese ttiimu okuyingira enkambi nga July 7, kyokka tekinnasoboka kuba tebalina ssente.

" Obudde bugenda, naye tetusobola kussa bazannyi mu nkambi kuba wadde twawandiikira Gavumenti nga tusaba ensimbi, tetunnafuna kuddibwamu,” Kavuma bwe yagambye.

Uganda yaakukiikirirwa abaggunzi basatu okuli Muzamir Kakande (Welter), Geoffrey Kakeeto (Bantam) ne David Ayiti (Super Heavy). Bano be baawangudde emidaali mu mpaka z'Afrika ezaakomekkerezeddwa e Congo Brazaville.

Kakande yawangudde omudaali gwa zaabu ate banne ne bawangula egya ffeeza. Akulira ebyensimbi mu kakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo aka NCS, Mohammed Bbaale, yategeeezezza nti ensonga za The Bombers bazimanyi, wabula balinda ssaabawandiisi, Nicholas Muramagi akomewo okuva wabweru w'eggwanga balyoke bazitunulemu.

Gye buvuddeko, Muramagi bwe yali asiibula The Bombers okugenda e Congo Brazzaville mu z'Afrika, yabategeeza nti balina omulimu gumu, gwa guyitamu kuzannya mpaka z'ensi yonna, ne yeeyama nti bajja kuweebwa ensako n'okubateeka mu wooteeri ya Africana mwe baba bakuba enkambi nga beetegeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.