TOP

Vipers egobye 10 lwa mutindo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

OMUZUNGU wa Vipers, Miguel Da Costa akutte olweyo n’agoba abazannyi 10 nti omutindo gwabwe tegusaana kubeera mu ttiimu erwanira bikopo.

Viperscoach703422 703x422

Miguel Da Costa , omutendesi wa Vipers ng'afalaasira Sserumaga

Miguel, eyeegatta ku ttiimu eno mu makkati ga sizoni ewedde n’emalira mu kyokusatu mu liigi, agamba nti sizoni eno ayagala ebikopo bibiri (liigi ne Uganda Cup) ng’okukituukiriza alina okuba n’abazannyi abamanyi kye bakola.

Abaagobeddwa kuliko, John Semazzi ne Patrick Ssembuya, ababadde ku looni mu Kirinya Jinja SS ne BIDCO, ne Yusufu Mukisa abadde yayazikibwa mu Proline.

Bonsatule endagaano zaabwe ne zaaweddeko, Miguel n’agaana okuzizza obuggya.

Abazannyi musanvu Miguel yalagidde bagende ku looni nga bano ye; Ibrahim Kayiwa, Brian Kakaire, Alfred Aleku ne Aggrey Madoi. Joseph Semujju (Express), Bashir Mutanda (Kirinya Jinja) ne Moses Batali (JMC) baalagiddwa okusigala mu ttiimu zino ku looni nga bwe balwana okulinnyisa omutindo.

Express eyagala Aleku ne Kayiwa ate UPDF (ebadde Saints) efiira ku Aleku ne Kakaire).

Madoi agenda mu Police etendekebwa Abdallah Mubiru. Miguel, enzaalwa y’e Portugal, yaguze Layo Lutimba okuva mu Express, Tadeo Lwanga (SC Villa), Tom Masiko (KCCA) ne Steve Mukwala okuva mu ttiimu y’Essaza lya Ssingo.

Yatenderezza Lwanga ne Lutimba nti ‘ttaaci’ gye baamulaze mu kutendekebwa okusooka ya mutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini