TOP

Nannyondo yeesozze empaka z'e London

By Teddy Nakanjakko

Added 15th July 2017

OLUVANNYUMA lw'okumala akabanga ng'asitaana okutuusa obudde obwetaagisa mu mpaka z'ensi eza IAAF World Championships, omuddusi Winnie Nannyondo yeesozze emisinde gy'e London.

Iaaf994700467 703x422

Winnie Nannyondo

OLUVANNYUMA lw'okumala akabanga ng'asitaana okutuusa obudde obwetaagisa mu mpaka z'ensi eza IAAF World Championships, omuddusi Winnie Nannyondo yeesozze emisinde gy'e London.  

Nannyondo owa kiraabu ya UWA era ng'ali mu team no sleep okwesogga ez'e London yabadde mu mpaka za Meeting Madrid ku Lwokutaano ekiro nga yamalidde mu kyakuna ng'aziddukidde eddakiika 2:00.22 n'aba ng'ali mu budde obumwetaagisa mu z'ensi yonna.   

Kati Uganda yaakukiikirirwa abaddusi basatu mu misinde gya mmita 800 nga ono yeegasse ku banne okuli; Halimah Nakaayi eyatuusa dda obudde, ne  Ajok Dorcus.   

Nannyondo awezezza omuwendo gw'abaddusi 15 abatuusizza obudde obwetaagisa okwetaba mu z'e London omwezi ogujja okuva nga August 4-13 2017.

Abalala kuliko aba Marathon Stephen Kiproitich, Solomon Mutai, Alex Chesakit, Jackson, Joshua Cheptegei, Timothy Toroitich, Stella Chesang n'ablala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe

Img20180823wa0018 220x290

Bobi Wine addizza Poliisi omuliro...

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ addizza poliisi omuliro ku ky’okugaana abawagizi be okuyisa...

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...