TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Aliko obulemu asuubizza okuwangulira Uganda omudaali omulala

Aliko obulemu asuubizza okuwangulira Uganda omudaali omulala

By Teddy Nakanjakko

Added 15th July 2017

MUNNAYUGANDA David Emong nga ye yekka eyakiikiridde Uganda mu mpaka z'ensi yonna ez'abantu abaliko obulemu ez'emisinde eza Paralympic Athletics Championships ezitandise leero mu kibuga London ekya Bungereza ali mu nsiike leero akawungeezi.

Athletics001pix 703x422

Munnayuganda David Emong asooka ku ddyo ng'ali mu nsiike gye buvuddeko

MUNNAYUGANDA David Emong nga ye yekka eyakiikiridde Uganda mu mpaka z'ensi yonna ez'abantu abaliko obulemu ez'emisinde eza Paralympic Athletics Championships ezitandise leero mu kibuga London ekya Bungereza ali mu nsiike leero akawungeezi.   

Emong eyawangulira Uganda omudaali gwa feeza mu olympics z'omwaka oguwedde ezaali mu kibuga Rio ekya Brazil waakutunka mu fayinolo ya mmita 1500 mu kibinja kya T46 era ng'atunuulidde okwongera ku budde bwe obwa 3:58.47.  

Yadde guli gutyo Emong si waakuyisa mukka mu kisero olwokuvuganya okusuubirwa okuva mu muddusi wa Algeria Nouloua Samir ng'ono amusinza ku budde kuba alina 3:51.80 mpozzi ne Bannakenya Stanley Misik ne Wesley Sang.   

Uganda yatutte omuddusi omu Emong ku baddusi abasoba mu mukaaga abaabadde batuusizza obudde obwetaagisa okwetaba mu mpaka zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssenga1 220x290

Mukyala wange yaba ki?

NNINA omukazi naye twegatta naye luutu emu yokka n’akoowa. Kino kiva ku ki? Ye mukyala wange yaba ki?

Afandelameckkigozingannyonyola 220x290

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba...

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba eza Bobi Wine

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...

Nara 220x290

Poliisi etadde ebiragiro ku bifo...

POLIISI eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya....