TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes ewera kuwandula South Sudan mu za CHAN

Cranes ewera kuwandula South Sudan mu za CHAN

By Silvano Kibuuka

Added 18th July 2017

Omutendesi wa Cranes Sredejovic Micho alabudde abazannyi bakomye okunyooma eggwanga lya South Sudan mu mupiira n’abagamba nti si y’eri gye baalabako emyaka ebiri egiyise.

Ddamu1 703x422

Omutendesi Mucho ng'afalaasira abazannyi e Lugogo July 17 2017.(ekif:Silvano Kibuuba)

Micho atandise okubangula abazannyi abagenda okudding’ana ne South Sudan ku Lwomukaaga e Lugogo ku kisaawe kya Phillip Omondi Stadium mu mpaka ezinaatwala omuwanguzi mu mpaka ez’akamalirizo eza Africa Cup ezeetabwamu abasambi abasambira mu Africa bokka mu ttiimu ez’awaka.

Cranes eya CHAN yalemaganye ne South Sudan 0-0 ku Lwomukaaga oluwedde e Juba nga bagenda kudding’anira mu Lugogo ku kisaawe eky’ekiwempe.

Anaawangula agenda kukwatagana n’anaawangula wakati wa Tanzania ne Rwanda nga bano nabo bali mu kusindana era omuwanguzi y’anaagenda mu z’akamalirizo mu Nairobi omwaka ogujja.

“South Sudan tekyali kikojogo. Mu myaka esatu beenunudde mu mupiira. Baamalira ku luzannya lwa kwota mu CECAFA ezaali e Sudan omwaka oguwedde,” Micho bw’alabudde abazannyi n’abakuutira okubeera abakalabakalaba nga bazannya n’ekigendererwa.

Ttiimu eddamu okutendekebwa eggulo lya leero ku kisaawe e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.