TOP

Abazannyi ba Cranes beetegekedde eza CHAN

By Hussein Bukenya

Added 19th July 2017

MU kampeyini 3 ezisembyeyo nga Uganda Cranes eyiseemu okuzannya empaka za CHAN, omuzannyi omu yekka y’aguliddwa ttiimu eziri ebweru w’eggwanga!

Action1 703x422

Micho (ku kkono) ng’atendeka abazannyi e Lugogo.

 Bya HUSSEIN BUKENYA  

Lwamukaaga mu za CHAN  Uganda Cranes - South Sudan  

Ebisale 15,000/- 25,000/- ne 50,000/-  

MU kampeyini 3 ezisembyeyo nga  Uganda Cranes eyiseemu okuzannya  empaka za CHAN, omuzannyi omu  yekka y’aguliddwa ttiimu eziri ebweru  w’eggwanga!

Ku mulundi guno nga  bagenda okuzannya omupiira ogunaabasembeza  ku z’akamalirizo,  abazannyi bawaga nti baakuzannya  n’obukodyo obw’enjawulo, basikirize  ttiimu z’ebweru zibagule.  

Empaka za CHAN zizannyibwa  abazannyi abagusambira awaka  ng’ez’omulundi guno zaakubeera Kenya.  

Abazannyi aboolesa obukodyo obulungi,  basikiriza ttiimu ennene ne zibagula.  

Uganda, yeetegekera South Sudan  gy’eddiηηana nayo ku Lwomukaaga mu  mupiira gw’erina okuwangula okutangaaza  omukisa gw’okwetaba mu mpaka  z’omwaka.

Mu kutendekebwa kwa  ttiimu mu kisaawe e Lugogo, abamu ku  bazannyi baategeezezza nti; “Tumaze  ebbanga nga twetaba mu mpaka zino  wabula ku luno, twagala tukozese obukodyo  obw’enjawulo obusikiriza ttiimu  ennene zitugule naffe tulye ku nsimbi.”  

Uganda yaakeetaba mu mpaka  za mirundi 3 (2011, 2014 ne 2016)  kyokka mu zonna, yaakatunda Yunus  Ssentamu okuva  mu Vipers okwegatta  ku AC Vital  eya DR Congo.

Mu  2014 ezaali e South  Afrika, Ssentamu  yateeba ggoolo  3 ezaasika Vital  n’emugula.    

Nicholas Wadada, omu ku bakyasinze okulwa mu Cranes ezannya empaka zino yategeezezza nti bwe banneesogga ez’akamalirizo, e Kenya baakugenda n’ekiruubirirwa eky’okwolesa obukodyo obw’enjawulo obusikiriza bakitunzi.

Wadada yawagiddwa, Geoffrey Sserunkuuma,  Timothy Awany, Bernard  Muwanga ne Muzamir Mutyaba.

"Tugenda kukola nnyo tuyiseewo  ttiimu, bwe tutuuka e Kenya tutandike  okunoonya akatale nga tuzannya  omupiira ogututunda," Sserunkuuma,  kapiteeni wa ttiimu, era nga ye  yateeba ggoolo emu yokka Cranes  gye yafuna mu mpaka eziwedde, bwe  yategeezezza. 

Okutuukiriza kino, balina okusooka  okuwandula South Sudan, bwe baddingana  ku Lwomukaaga mu kisaawe  e Lugogo mu z’okusunsulamu.

Mu  gwasooka baagwa maliri (0-0) e Juba.  Cranes okuyitawo yeetaaga buwanguzi,  ettunke n'anaayitawo ku Rwanda  ne Tanzania, okufunako ttiimu egenda  okuzannya ez’akamalirizo.

Emirundi esatu Cranes gy’ekiise mu  CHAN, tevangako mu kibinja.  

SOUTH SUDAN BATUUKA LWAKUNA:

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein  yategeezezza nti ttiimu ya South Sudan  etuuka enkya (Lwakuna), wadde  ng'abakungu abamu baatuuse ku  Lwokubiri okugiteekerateekera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.