TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi wa South Sudan awera kuwandula Uganda

Omutendesi wa South Sudan awera kuwandula Uganda

By Hussein Bukenya

Added 21st July 2017

BILAL Felix Kumuyange, atendeka ttiimu ya South Sudan azze awaga nga ttiimu ye bw’egenda okuwandula Uganda Cranes.

Craneschantrainjuly1bukedde1 703x422

Omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ng'awa abasambi ebiragiro nga bagolola ebinywa e Namboole mu kutendekebwa kwa ttiimu ya CHAN July 1 2017. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Lwamukaaga e Lugogo mu za CHAN

Uganda - South Sudan 10:30

Ttiimu zombi zittunka mu mupiira gw’okudding'ana e Lugogo, mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za CHAN.

Empaka zino, zizannyibwa abasambi abagusambira awaka.

Ogwasooka e South Sudan, omupiira gwaggweera mu maliri (0-0) nga mu gw’enkya (Lwamukaaga), buli omu yeetaaga buwanguzi okuyitawo.

Nga South Sudan tennasimbula Juba, omutendesi Kumuyange ng’ayita ku mukutu gwa www. eyeradio.org, yasuubizza abawagizi nti; “Tulina okuwangula wadde Uganda etugaya naye ndaba terina ky’etusinga.” Eggulo ku Lwokuna, lwe baatuuse mu Uganda Ebiwadde Kumuyange essuubi ly’okuwangula, kwe kuba ng’omupiira guno gwakuzannyibwa ku kisaawe ky’ekiwempe e Lugogo ate nga nabo e South Sudan, kwe bazannyira.

Guno gwe mulundi gwa Uganda gw’egenda okusooka okuzannyira e Lugogo bukya kisaawe bakyalirirako kiwempe era guno Kumuyange agulabye nga mukisa gwe okuwanguliramu.

Ajulizza nti Uganda emanyidde Namboole mw’erina likodi ennungi ng’eky’e Lugogo, bo (South Sudan) be bajja okuwangula.

Wabula kapiteeni wa Cranes, Geoffrey Sserunkuuma agumizza Bannayuganda n’agamba nti South Sudan ya ddembe okuwaga, naye baakugiragirako mu kisaawe.

“Nga tukyalidde South Sudan, twasubwa emikisa egiwerako naye tekigenda kuddamu kubaawo nga tuli Lugogo,” Sserunkuuma bwe yategeezezza era n’akunga Bannayuganda okweyiwa mu bungi mu kisaawe babawagire.

Ayitawo ku ttiimu zino, waakusisinkana anaawangula wakati wa Rwanda ne Tanzania okufunako aneesogga empaka za CHAN ez’akamalirizo ezinaabeera e Kenya omwaka ogujja.

South Sudan lwe yasemba okujja mu Uganda, yakubwa (4-0) mu CECAFA mu 2012.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.