TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Obulippo obussibwa mu ndagaano z’abazannyi ne zibasiba enkalu

Obulippo obussibwa mu ndagaano z’abazannyi ne zibasiba enkalu

By Moses Kigongo

Added 22nd July 2017

Omuzannyi ali ku ttiimu y’eggwanga naye tasasulwa kye kimu n’atagizannyira.

Poloto1 703x422

Abazannyi KCCA be yasuumusa n’ebaleeta ku ttiimu enkulu mu ku ntandikwa ya szioni eno.

AKATALE k’okukyusakyusa abazannyi mu liigi ya Uganda ne mu nsi yonna kakyagenda mu maaso era abazannyi bangi bagulwa mu ttiimu emu okugenda mu ndala.

Wano mu Uganda obutafaananako na mawanga malala agaakulaakulana edda mu mupiira, abazannnyi abakansibwa bakomekkerezebwa endagaano zaabwe zivvooleddwa era gye biggweera ng’omuzannyi ne ttiimu mw’abadde, nga baawukanye nga ba bigwo.

Moses Kigongo akoze okunoonyereza n’azuula ebibeera mu ndagaano abazannyi ba Uganda ze bassaako omukono.  

Endagaano abazannyi ba Uganda ze batera okuweebwa ze bayita endagaano z’emirimu (Employment Contracts).  Zino ze zimanyiddwa nnyo mu nsi yonna ne mu mupiira gwa Uganda okutwalira awamu.

Endagaano ekika kino, ebeera erambika mulimu muntu gw’agenda kukolera oyo amukansizza oba kkampuni emupangisizza n’engeri gy’agenda okugukolamu ssaako obuwaayiro n’obukwakkulizo bw’anaagoberera ng’akola.

Mu mbeera y’omupiira, endagaano erambika omuzannyi ono bw’anaazannya, emipiira gy’anaazannyira ttiimu emukansizza, anaatendekebwa atya era ddi ssaako emirimu emirala gy’anaakolera ttiimu emuguze.

Wabula waliwo endagaano ez’ebika ebirala okugeza ey’okutendeka omuzannyi, okumukolera ku nsonga z’ebyensimbi, okumuyiggira kkampuni z’akubira obulango n’ebirala kyokka zino zimanyiddwa nnyo mu bazannyi b’ebweru.

 usa ukasa ku kkono omu ku bazannyi illa be yaguze sizoni eno ngassa omukono ku ndagaano u ddyo ye ally ugwanya maneja wa illa Musa Mukasa (ku kkono), omu ku bazannyi Villa be yaguze sizoni eno ng’assa omukono ku ndagaano. Ku ddyo ye Vally Mugwanya, maneja wa Villa.

 

Biki ebibeera mu ndagaano z’abazannyi ba Uganda;

Abazannyi ba Uganda bangi bassa omukono ku ndagaano nga tebategedde buwaayiro buzirimu.

Abamu kasita bategeera ssente z’aguliddwa, z’agenda okufunanga buli mwezi oba buli wiiki, ebirala tafaayo kubimanya.

Abamu ku bazannyi bassa omukono ku ndagaano nga tebategeereddeeko ddala bizirimu anti ziba zibagiddwa mu Lungereza ate ng’abamu tebaasoma.

Waliwo n’abazannyi abagenda okuzannya pulofeesono naddala mu mawanga g’Abawarabu, e Vietnam, China n’amawanga amalala abagwa ku buzibu kuba ennimi endagaano ezo mwe ziba ziwandiikiddwa baba tebazitegeera ate nga tebalina bataputa.

Abo abalina ababataputira, oluusi baba balyake abatalina bwesimbu era gye biggweera ng’abazannyi beemulugunyizza nti bababbye.

Ivan Kakembo eyali akulira emirimu mu SC Villa agamba nti abazannyi ba Uganda bangi tebamanya wasinga kubeera kinyusi mu ndagaano gye biggweera nga bazimenye oba nga ttiimu ezibaguze zibanyaze.

Kakembo agamba nti, endagaano entuufu yandibademu bino wammanga;

1.Ekigendererwa kyayo; Endagaano ey’omulembe erina okuba n’ekigendererwa ekigitonzaawo era eteekwa okunnyonnyola ekigendererwa ekyo mu bulambulukufu bwakyo okusobozessa enjuyi zombi (omuzannyi ne ttiimu emugula) okugissaako omukono nga bategedde bulungi ebigendererwa byayo.

Omuzannyi aguliddwa okuzannya omupiira ate tolina kumusanga ng’ayoza mijoozi, aweereza mipiira ku kisaawe (ball boy) oba ng’afumbira banne mmere. Omuzannyi eyeenyigira mu kukola ebintu ebyo aba amenye ndagaano.

2. Endagaano etandika ddi era eggwaako ddi; Endagaano yonna erina okubaako ekiseera w’etandikira ne w’ekoma. Ebbanga eriri mu ndagaano teririna kuyita mu lye mukkaanyizzaako mu ndagaano ate obuwaayiro bwonna obuteereddwaamu bulina okutuukirira okutuusa ng’ebbanga liweddeko olwo enjuyi zombi ne zikkaanya okuzza obuggya endagaano oba okukomya awo.

3. Bye mukkirizaganyizzaako; Muno muzingiramu ebintu bingi okugeza ensasula y’omuzannyi, mitendera ki mwe munaayitanga okumenya endagaano singa oludda olumu lunaabanga sirumativu n’ebirala. Ebintu bino nabyo biteekeddwa okuba mu buwandiike.

4. Obuvunaanyizibwa bwa buli ludda; Obuvunaanyizibwa bw’omuzannyi ne ttiimu emuguze buteekwa okuba nga bulambikiddwa bulungi. Okugeza omuzannyi akansiddwa kuzannya mupiira gwokka oba waliwo emirimu emirala gy’anaakolera ttiimu ebweru w’ekisaawe?

Bangi ku bazannyi babakansa kuzannya mupiira kyokka gye biggweera nga batwaliddwa mu mirimu emirala egitalina kakwate ku mupiira.

Kakembo agamba nti, bangi ku bazannyi obasanga mu mirimu gya bulungi bwa nsi ate nga tebakkaanya kukola mirimu egyo.

Omukozesa oteekwa kumukolera ki okumusobozesa okutuukiriza emirimu gye obulungi? Ttiimu emuguze y’eneemuguliranga engatto z’okuzannyiramu oba anajjanga n’ezize?

Anejjanjabanga oba abamuguze be banaamujjanjabanga? Era banaamujjanjabanga kutuuka wa?

Gye buvuddeko wabaddewo okusika omuguwa ku muzannyi wa Express, Vincent Onyebuchi eyamenyeka okugulu ng’azannyira ttiimu eyo ne kuvunda okukkakkana nga batandise kuyisa kabbo okumusondera.

Kitegeeza nti endagaano gye yassaako omukono erimu ebirumira oba nga ye (omuzannyi) teyagisoma bulungi.

5. Ky’ofunamu; Endagaano yonna eteekeddwa okukuwa ekifaananyi ekituufu ky’ogifunamu singa ogissaako omukono. Wabula kino tekikoma ku ludda lumu wabula enjuyi zombi ziteekeddwa okuba nga zigifunamu.

ZAAWUKANIRA WA N’EZ’ABAZUNGU;

Kakembo agamba nti endagaano tezirina we zaawukana kuba amateeka agazifuga zonna ge gamu wabula enjawulo eri mu kugagoberera.

Abazungu bagoberera nnyo amateeka kyokka mu Uganda, tugabuusa amaaso. Wano enjawulo w’erabikira mu ndagaano.

Mu Bazungu, nayo waliyo endagaano ezikolebwa oludda olumu ne lunyigiriza lunnaalwo.

Okugeza, nga Wayne Rooney yeegatta ku Everton, ManU y’egenda okumusasula omwaka ogusigaddeyo ku ndagaano ye wadde ng’anaaba tagizannyira.

Mu ngeri y’emu, Zlatan Ibrahimovic naye yakwata ManU obujega n’agifunamu ensako ensava buli ggoolo gye yateebanga okukkakkana nga ssente z’ayodde sizoni ewedde mpitirivu.

Kigambibwa nti buli ggoolo yafunanga pawundi 143,000 (obukadde 629 mu ssente za Uganda).

WALIWO EKIKOLEDDWA?

Waliwo ekikoleddwa okulaba nga ttiimu tezifera bazannyi? Eyali omutendesi wa Lweza, Viali Bainomugisha agamba nti FUFA yassaawo amateeka aganaalung’amyanga endagaano z’abazannyi ba wano.

Kino kirina engeri gye kiyambyemu okumalawo enkayaana wakati w’abazannyi ba liigi ne kiraabu zaabwe.

 atia ule atendeka xpress lwe yassa omukono ku ndagaano yokutendeka ttiimu eno Matia Lule, atendeka Express lwe yassa omukono ku ndagaano y’okutendeka ttiimu eno.

 

EBITERA OKUVAAKO OBUZIBU WAKATI W’ABAZANNYI NE KIRAABU;

Abazannyi abasinga tebalina bakugu babayambako kusoma n’okwetegereza obuwaayiro bwonna mu ndagaano ze bakola ne kibaviirako okufuna obutakkaanya.

Kakembo agamba nti abazannyi abasinga batunuulira nnyo ssente ezibeera mu ndagaano zino okusinga ebirala ebizibeeramu.

Awa abazannyi amagezi okutandika okufunanga abakugu mu kusoma n’okutaputa amateeka babayambengako okumalawo okusoomozebwa kuno.

AMATEEKA AGAFUGA ENDAGAANO ZINO;

Kakembo agamba nti; Waliwo amateeka agalambikiddwa ku buli ndagaano ekolebwa.

Yawadde ekyokulabirako ky’endagaano za bannabyamizannyo mw’osanga obuwaayiro okuli; ekiseera omukozi w’anaafuniranga oluwummula (leave), engeri gy’anaayisibwangamu amukozesa wamu n’okuweebwa obujjanjabi singa anaaalwala oba okufunira obuzibu ku mulimu n’ebirala.

Ensobi endala abazannyi ba Uganda gye bakola bwe butasigaza kkopi ku ndagaano gy’ataddeko mukono. Ekiseera kituuka ttiimu n’eyagala okuvunvubika omuzannyi naye nga talina w’ajuliza kuba talina kkopi ya ndagaano.

Kakembo agamba nti awo abamu we batandikira okupapala ne baddukira mu FUFA okukebera sso nga kyandibadde tekyetaagisa singa abeera yasigaza kkopi y’endagaano.

Ebibeera mu nda gaano z’abazannyi ba wa no bituukirizibwa?

Omu ku bazannyi ba SC Villa ataayagade kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti; Tewali mutemwa gwa ssente gugerekerwa mu ndagaano zino kyokka waliwo ebintu bingi ebitunuulirwa naddala bwe baanaba bagereka omusaala gw’omuzannyi.

Okugeza batunuulira omugaso gw’omuzannyi oyo gw’agenda okugatta ku ttiimu ye, obumanyirivu, kiraabu mw’avudde ne mw’agenda okuzannyira n’ebirala.

Omuzannyi ali ku ttiimu y’eggwanga naye tasasulwa kye kimu n’atagizannyira.

“Mu ndagaano yange nfuna emitwalo 50 buli mwezi kyokka nga waliwo n’ensako endala eyakkaanyizibwako. Mpeebwa emitwalo 10 buli lwe tuwangula ttiimu ennene okuli; KCCA, URA, VIPERS ne Express,” omuzannyi oyo bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, “Mu birala ebimpeebwa kuliko; entambula ya 10,000 buli lwe tutendekebwa n’okukiikirira kiraabu mu mirimu emirala egikolebwanga wabweru w’ekisaawe (CSR).

Bwe tukola amaliri tetuweebwa nsako ate bwe tuwangula ttiimu enjabayaba, tufuna emitwalo 6.”

Bino byonna bakama baffe bafuba okulaba nga babituukiriza.

Abazannyi abalala kye boogera;

Omu ku baali abazannyi ba KCCA (amannya gasirikiddwa) yeevuma endagaano gye yassaako omukono ku ttiimu eyo.

Agamba nti bwe baali bamukansa, baamuwa akakwakkulizo nti okumwongeza omusaala okuva ku 700,000 ze yali afuna okutuuka ku kakadde kamu, alina kusooka kuyamba ttiimu eno ewangule liigi.

Wabula omuzannyi ono agamba nti liigi yali eneetera okutuuka mu makkati, n’asuulibwa ku ttiimu esooka era gye byaggweera ng’ayazikiddwa mu ttiimu endala.

Okwongezebwa omusaala okwamusuubizibwa, teyakufuna kuba yali tamanyi w’agwa (muzannyi wa KCCA oba wa ttiimu gye bamwaziseemu?).

“Ekinnuma kiri nti ekikopo KCCA yakiwangula kyokka nze naviiramu awo ate nga si nze nneesalirawo njazikibwe mu ttiimu endala,” omuzannyi ono bw’agamba.

Omuzannyi omulala (owa Bright Stars) agamba nti; Mu ndagaano, zaffe twakkaanya kusasulwa ng’abakozi ba kkampuni ya Kings Bet (bannanyini ttiimu).

Wabula baatuteerawo akakwakkulizo okugendanga mu kkampuni eno tukole oluvannyuma lw’okutendekebwa era kino twakikolera ebbanga okutuusa lwe twagimalako.

Akulira liigi ya Azam ky’agamba:

Bernard Bainamani, ssentebe wa liigi ya Azam Premier League agamba nti, “Endagaano z’ennaku zino zirina amateeka agalambika enkolagana y’omuzannyi ne kiraabu n’empaka enjuyi zombi mwe zinaazannya.

Eno y’ensonga lwaki tetukyakkiriza ndagaano yonna za bitundu (nga za mipiira mibale).”

Yagasseeko nti, “Endagaano entuufu erina kutandika okuviira ddala empaka lwe zitandika okutuusa lwe zikomekkerezebwa oba waakiri mu makati gaazo ng’empaka zino ziwumuddemu.

Yenna atagoberera mateeka gano, endagaano ye tekkirizibwa mu mateeka agafuga omupiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...