TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Micho asambazze eby’okusuulawo Cranes agende e South Afrika

Micho asambazze eby’okusuulawo Cranes agende e South Afrika

By Hussein Bukenya

Added 23rd July 2017

MICHO Sredojevic atendeka Cranes asambazze ebigambibwa nti agenda kusuulawo omulimu guno yeegatte ku ttiimu endala.

Fm20 703x422

Kiddiridde amawulire okusaasaana nga galaga nti Micho omupiira gw’eggulo (Ssande) nga Cranes ettunka ne South Sudan mu za CHAN, gwe yasembye okutendeka.

Bwe yabadde ayogerako ne Bukedde, Micho yakkiriza nga bwe waliwo ttiimu ezimwegwanyiza kyokka endagaano gy’alina ne FUFA tasobola kugimenya kuba akolera mu mateeka.

“Eky’okugenda mu kaseera kano ηηambo ezaagala okunzigya ku mulamwa, kyokka nazimanyiira kuba buli lwe tubeera n’omupiira omunene ttiimu zitera okukikozesa nga zaagala mpuguke kyokka nange mbeera mugezi ekimala,” Micho bwe yategeezezza.

Ebya Micho, okwabulira Cranes byatandika mu 2015, nga Cranes yaakawangula Nigeria (1-0) mu gw’omukwano.

Al Hilal eya Sudan yavaayo n’etegeeza nga bw’emumalirizza nga ne ttiimu z’eggwanga okwali; Nigeria, Ghana, South Afrika n’endala nazo zaamwegwanyizaako.

Wadde nga Micho, asambajja ensonga zino wabula ensonda ziraga nti omulundi guno yandiba ng’amaliridde okwabulira Cranes era buli kimu ekimwetaagisa okutambula kyawedde.

Ensonda zaalaze nti, n’abaana be yamaze dda okubatwala mu Ethiopia gy’alina amaka era omupiira gwa Cranes oluggwa, waakubakana n’emisoso gy’okwegatta ku Orlando Pirates eya South Afrika.

Waliwo n’ebigambibwa nti ttiimu y’e Libya eyakansizza Micho era alinze kutegeeza FUFA nti agenda.

Balirwana ba Micho e Ntinda baategeezezza nti ebimu ku bintu by’abadde akozesa awaka yabigabye era yakyalidde n’ekifo awakuumibwa abaana abataliiko mwasirizi ekya Sanyu Babies Home n’abagulira emifaliso n’ebikozesebwa ebirala okwebaza Katonda olw’ebbanga ly’amaze mu Uganda.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nti eby’okugenda kwa Micho talina ky’abimanyiiko kuba aky’alina endagaano ne FUFA.

Mu December w’omwaka oguwedde, nga Micho yaakayamba Cranes okugenda mu mpaka z’Afrika e Gabon, Micho yafuna obutakkaanya ne FUFA ku by’ensasula.

Micho yeegatta ku Cranes mu May wa 2013 ng’asikira Bobby Williamson.

Ayambye Cranes okugenda mu mpaka z’Afrika, eza CHAN emirundi ebiri (2014 ne 2016), awangudde CECAFA omulundi gumu n’okutwala Cranes mu mpaka z’Afrika omwaka guno e Gabon.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala