TOP

Emizannyo giwonye okudaaga

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2017

MU kaweefube w’okumalawo obuzibu bwa Uganda okutwala ttiimu ez’ebitundu mu mpaka eziri wabweru w’eggwanga, Gavumenti erangiridde bw'egenda okussaawo ensawo enzibizi enedduukiriranga ttiimu za Uganda ez'enjawulo ezitalina ssente zizitambuza okugenda ebweru.

Kataha 703x422

Minisita Janet Museveni (wakati) n'abamu ku bakungu e Nakasero ku Lwokuna. Ayambadde omudaali ye Emong ate owookubiri ku ddyo ye minisita w'emizannyo Charles Bakkabulindi

Bino byayogeddwa minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni bwe yabadde akulisaayo omuddusi w’emisinde gy’abaliko obulemu, David Emong.

Ono yawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya World Para Atheletics Championships egyakomekerezeddwa gye buvuddeko e London mu Bungereza.

Minisita Janet Museveni ku kijjulo kino ekyabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero, yagambye nti eno y’engeri yokka eneegonjoola obuzibu bwa Uganda okukiikirirwa ttiimu ezitawera n’okumalawo eky'ebibiina by'emizannyo okusabirizanga Gavumenti ku ssaawa esembayo.

“Tugenda kussaawo ensawo eneegonjoola obuzibu bwa ssente mu ttiimu zaffe. Nkooye okuwulira nti ttiimu ezimu zigenda teziwera lwa bbula lya ssente,” Janet Museveni bwe yagambye.

Yagasseeko nti ensawo eno yaakutandika okukola omwaka ogujja.

Mu ngeri y'emu yasuubizza Emong ettu n’okukolera bannabyamizannyo bonna abasembye okuwangulira Uganda emidaali ekijjulo ekibeebaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190716115246 220x290

ABANOONYA :Brenda Nafula eyeepikira...

ABANOONYA :Brenda Nafula eyeepikira omuyimbi Chris Evans

Ssenga1 220x290

Ebbaluwa ya ssenga: Omukozi oyagala...

NAMUKASA, wazaala naye ennyumba yafuuka ekizibu! Eno amabeere gatonnya, obubi bw‛omwana, omusulo wenna tofaananika....

Ssenga1 220x290

Maama w’abaana ayagala kundekawo...

TULINA abaana bataano era omwana waffe asembayo alina emyaka ebiri. Mukyala wange yansanga n’omukazi naye nakola...

Kab2 220x290

Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu...

Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu kakiiko kakangavvule Paasita Bugingo

Ssenga1 220x290

Muwala waffe tomugaana kuzaala...

NAWULIZZA ku muwala waffe naye nasobeddwa bwe yaηηambye nti toyagala kuzaala kubanga wazaala dda abaana babiri....