TOP

Mbappe; Man City ereese kiremya emufiirize Real Madrid

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2017

OLUTALO lw’okukansa musaayimuto, Kylian Mbappe lweyongedde okunyinyitira.

Mbappe1 703x422

Mbappe

OLUTALO lw’okukansa musaayimuto, Kylian Mbappe lweyongedde okunyinyitira.

Oluvannyuma lw’okukitegeeza nti Real Madrid yakkaanyizza emugule ku bukadde bwa pawundi 160, Man City ya Pep Guardiola yeesowoddeyo n’etegeeza nti nayo ssente ze batunda musaayimuto wa Bufalansa ono ezirina era eyingidde enteeseganya ne Monaco omuzannyi ono mw’azannyira.

Mbappe, 18, y’omu ku bamusaayimuto abakutte ensi y’omupiira omubabiro era Zinedine Zidane atendeka Real Madrid, yamusuubizza ennamba etandika mu ttiimu ye sizoni ejja singa anaabeegattako era kigambibwa nti abakungu ba Monaco baabadde bakkirizza okutunda ssita waabwe ono.

Wabula oluwulidde bino, ne Man City n’essaamu okusaba kwayo. “Ssente ezisobola okugula buli muzannyi tuzirina era tewali ayinza kutulema singa tulaga nti ddala tumwagala,” Guardiola bwe yategeezezza abaamawulire.

Bwe yabuuziddwa oba nga yataddeyo okusaba kwe eri omuzannyi ono, yagambye nti, “Mu kiseera kino omuzannyi gwe mumbuuzaako akyali wa Monaco kyokka buli kimu kisoboka.”

Bibadde bikyali bityo, ne Arsene Wenger atendeka Arsenal n’ategeeza nga bw’akyalina essuubi okukansa Mbappe.

Wenger agambibwa okuba n’enkolagana ey’amaanyi ne bazadde ba Mbappe era kino ky’asuubirwa okumuwa enkizo okukansa omuzannyi ono.

Wabula abagasomera mu nkuubo bagamba nti Wenger ayogerako bwogezi kuba talina ssente ze bamutunda.

Amawulire amalala gaategeezezza nga Monaco bw’eteeseganya okwongera Mbappe endagaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.