TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Bamusaayimuto bawangulidde Uganda emidaali gya zaabu e Yitale

Bamusaayimuto bawangulidde Uganda emidaali gya zaabu e Yitale

By Teddy Nakanjakko

Added 30th July 2017

UGANDA ewangudde emidaali gya zaabu mu mpaka z’ensi yonna ez’okulinnya ensozi eza World Mountain Running Championships 2017 ez’omulundi ogwa 33 ezibadde mu kibuga Premana ekya Yitale.

Amato1 703x422

Chelimo ne Chebet abawangudde emidaali gya zaabu

Bya TEDDY NAKANJAKO

Oscar Chelimo (16) n’omuwala  Risper Chebet (18) be baasoose okuwangula zaabu mu kibinja ky’abato ekya Junior mu balenzi n’abawala ku makya ga Ssande ng’abakulu tebannadduka.

Mu kiseera ky’ekimu omuddusi Stephen Kissa adduka mmita 5000 y’alondeddwa okukulembera ttiimu y’abaddsui 20 esitula leero ku Mmande okugenda mu mpaka z’ensi yonna eza  IAAF World Championsips ezitandika ku Lwokutaano 4-13, 2017 mu kibuga London ekya Bungereza.

Ttiimu eno erimu abaddusi abasajja 12 n’abakazi  munaana y’akukulemberwa pulzidenti w’ekibiina Dominc Otuchet nga maneja ate abatendesi ye Gordon Ahimbisibwe owa UPDF ng’amyukibwa Abayitale Guiseppe Giambrone n’omusawo wa ttiimu Veronica Sampieri.

Ttiimu erimu;

1. Abu Mayanja -  800m (Ono asitula ku Lwakubiri)

2. Ronald Musagala -  1500m

3. Jacob Araptany – 3000mSC

4. Boniface Sikowo – 3000mSC

5. Albert Chemutai – 3000mSC

6. Stephen Kissa – 5000m

7. Jacob Kiplimo – 5000m

8. Joshua Cheptegei – 5000m/10000m

9. Timothy Toroitich – 10,000m

10. Solomon Mutai – Marathon

11. Robert Chemonges – Marathon

12. Chesakit Alex – Marathon

Abakazi;

1. Halima Nakaayi – 800m

2. Winnie Nanyondo – 800m

3. Dorcus Ajok – 800m

4. Esther Chebet – 1500m

5. Peruth Chemutai – 3000mSC

6. Mercyline Chelangat – 5000m

7. Stella Chesang – 5000m

8. Juliet Chekwel – 10,000m

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...