TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Bannabyamizannyo abaliko obulemu beennyamivu

Bannabyamizannyo abaliko obulemu beennyamivu

By Silvano Kibuuka

Added 30th July 2017

Bannabyamizannyo abaliko obulemu beekubidde enduulu mu gavumenti etunule mu kiwandiiko kye baatwala mu Palamenti mu kaweefube w’okulwanirira eddembe lyabwe mu mizannyo.

Athleticsparaemongjuly27bukeddeweb 703x422

DAVID Emong (wakati) ng'ali n'abakungu b'emizannyo gy'amalema. Ku kkono ye Bumaali Mpindi pulezidenti w'ekibiina kya Uganda Paralympics Committee ate ku ddyo ye Edson Ngirabakunzi akulira ekibiina ekigatta abalema ekya UUDIP nga baabadde ku wofiisi w'ekibiina ekyo e Ntinda, July 27 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Balaze obwennyamivu nti gavumenti yabawadde ssente za muzannyi omu yekka David Emong ne baleka ttiimu y’abazannyi 15 eyali etendekeddwa.

Bawadde ekyokulabirako nti Rwanda yatutte abazannyi 25, Kenya 60, South Sudan 10 ne Tanzania 15.

Babadde ku kitebe kyabwe ekya National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) we babadde baaniririza omuddusi David Emong eyawangudde omudaali gwa zaabu mu mpaka z’ensi yonna eza World Paralympics Championships ezaabadde mu kibuga London nga July 14 omwezi guno.

Akulira NUDIPU, Edson Ngirabakunzi ategeezezza nti mu bye baasaba gavumenti mulimu okubawa ekifo ku kakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga aka NCS, minisitule okutegeka emizannyo gy’amasomero egy’abalema, okubateeka ku bajeti mwe bafunire ensimbi butereevu n’ebirala.

“Twetaaga obukadde 800 okuddukanya ekibiina kya Uganda Paralympics Committee okutendeka abazannyi, abatendesi , okugula ebikozesebwa n’ebirala,” pulezidenti wa Uganda Paralympics Committee Bumaali Mpindi bw’ategeezezza.

Yayongeddeko nti bagenda kuddayo mu Palamenti bongere okwekubira omulanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi