TOP

Ttiimu ya Uganda ey'emisinde esiibuddwa

By Silvano Kibuuka

Added 31st July 2017

Gavumenti ewadde abaddusi 20 abakiikiridde eggwanga mu misinde gy’ensi yonna e London ssente 1,000,000/= buli omu nga za kwekuumisa.

Athleticsswalley5 703x422

Gavumenti ewadde abaddusi 20 abakiikiridde eggwanga mu misinde gy’ensi yonna e London ssente 1,000,000/= buli omu nga za kwekuumisa.

Ssabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi y’ategeezezza bino bw’abadde akwasa abaddusi bano bbendera y’eggwanga okubasiibula e Lugogo era nga basiibuddwa ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ku nnyonyi ya Turkish Air.

Abakungu abagendedde ku ttiimu baweereddwa 1,500,000/= buli omu.

“Ssente tuzibawadde kweguliramu obuntu obutonotono nga bali mu kibuga London. Tubasuubiramu okukola obulungi kubanga bonna baali bagenzeko mu mpaka ennene okuggyako Abu Mayanja akyali omupya ku ttiimu,” Muramagi bw’ategeezezza.

Abaddusi bagenda kulwanira ne ssente ezigendera ku midaali ng’awangula zaabu afuna ddoola 60,000 (eza Uganda 216,600,000/=)  owa feeza n’afuna 40,000 (mu za Uganda 144,400,000/=) ate ow’ekikomo n’afuna 20,000 ( mu za Uganda 72,200,000/=).

Abaddusi abasooka omunaana bonna baakufuna ensimbi okusinziira ku Pulezidenti wa Uganda Athletics Federation (UAF) Dominic Otuchet.

Otuchet ategeezezza Bannayuganda nti ttiimu agirinamu obwesige kubanga etendekeddwa bulungi ate nga bonna baafunye ebisaanyizo okuyitamu okwetaba mu misinde egyo, teri yayise mu kamooli.

Ttiimu eno egendeddemu n’omuddusi Joshua Cheptgei eyadduka e Kololo mu misinde gy’ensi yonna egy’okwetoloola ebyalo n’aggwaamu amaanyi nga ye yali akulembedde banne.

“Ng’enda kudduka na bwegendereza wabula Katonda y’asinga okumanya,” Chetbw’ategeezezza nga tebanasimbula e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera