TOP

Umar Semata alangidde Golola obutiitiizi

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2017

OMUKUBI w’ensambaggere Umar Semata alangidde Moses Golola okuba omutiitiizi n'amusaba akomye okwebulankanya bakubagane mu kifo ky’okumwewereranga ebweru w’emiguwa.

Umarsemata 703x422

Umar Semata ne Golola Moses gw'alangidde obutiitiizi

Bya Fred Kisekka

OMUKUBI w’ensambaggere Umar Semata alangidde Moses Golola okuba omutiitiizi n'amusaba akomye okwebulankanya bakubagane mu kifo ky’okumwewereranga ebweru w’emiguwa.

Semata bino yabyogeredde ku jiimu ya University of Pain mu kutendekebwa okwa kaasammeeme mw'agenda okuttunkira n’Omurussia Eygeny Kuravskoi nga 4, August, 2017 mu kibuga Nice ekya Bufaransa.

“Golola mmulabula akomye obutiitiizi, twalina okulwana naye ndyoke ng'ende e Bufaransa kyokka azze yeebulankanya! Bw'aba ansobola tugende mu miguwa gye giba gitulamula,” Semata bwe yagambye.

Ono yasuubizza okuwa Bannayuganda essanyu ng'atimpula Kuravskoi mu nnwana ya Muay Thai ey'okukozesa enkokola, amaviivi ne tteke mu buzito bwa ‘Welter’.

Semata ng’essaawa eno y’alina omusipi gw’ensi yonna ogwa ‘WKF Middle Weight title’ omwaka guno yakubye Ronald Mugula mu lulwana olwabadde ku MTN Arena e Lugogo.​

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...