TOP
  • Home
  • Mupiira
  • FUFA eronze Basena ne Kajoba okusikira Micho eyasuddewo Cranes

FUFA eronze Basena ne Kajoba okusikira Micho eyasuddewo Cranes

By Stephen Mayamba

Added 31st July 2017

FUFA eronze Basena ne Kajoba okusikira Micho eyasuddewo Cranes lwa nsasula

Fufa3 703x422

Moses Magogo pulezidenti wa FUFA ng'ayogera eri bannamawulire ku nsonga z'abadde omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich eyasuddewo omulimu olw'okubanja omusaala. (STEPHEN MAYAMBA)

FUFA eronze Moses Basena ne Fred Kajoba, ababadde abamyuka ba Micho Sredojech okutendeka Uganda Cranes okumala ekiseera nga bwe balowooza ku ky’okufuna omutendesi omulala.

Micho ku Lwomukaaga yalangiriridde nga bw'asuddewo omulimu gw’okutendeka Cranes olw’ebbanja lya 54,000/- eza doola z’abanja FUFA ekyalese ttiimu nga telina mutendesi mu kiseera nga yeetegekera emipiira ena egy’akaasammeeme.

Uganda ezannya Rwanda emipiira ebiri ku luzannya olusembayo mu z’okusunsulamu z’empaka za CHAN 2018 so nga ne ttiimu enkulu ezannya Misiri emipiira ebiri mu z’okusunsulamu za World Cup ya 2018 egenda okubeera e Russia.

Ng’ayogera eri ab’amawulire, Ying. Moses Magogo, pulezidenti wa FUFA ategeezezza nga bwe batudde n’akakiiko ak’ekikugu ne bakkaanya nti Basena ne Kajoba ababadde bakola ne Micho basigale mu mitambo gya ttiimu eno oluvannyuma bakole ku ky’okufuna omutendesi ow’enkalakkalira.

Magogo ayongeddeko nti Micho ssente z’abadde abanja bagenda kuzimusasula naye ekisinga obukulu FUFA yeetaaga gavumenti egikwasizeeko ku misaala gy’abakozi ba ttiimu y’eggwanga ab’enkalakkalira ng’omutendesi, ensako ne tiketi z’entambula za ttiimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...