TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Uganda eyungudde 60 mu z'amasomero eza East Africa

Uganda eyungudde 60 mu z'amasomero eza East Africa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2017

Uganda eyungudde 60 ku ttiimu y'eggwanga ey’emisinde okwetegekera empaka z'ámasomero ga Ssiniya aga East Africa ezinaayindira mu disitulikiti y'e Gulu omwezi ogujja.

Abaduusibanalinyalwantalegirlsssngabajaguzaemidaaliogwazaabunefeezagyebawangudemumisindegyegwangagyamasomeroagasiniyaelira 703x422

Abayizi ba Nnaalinnya Lwantale nga balaga emidaali gye baawangudde mu mpaka z'eggwanga ez'amasomero. EKIF: AMANDA NAMAYO

Bya Amanda Namayo

Ttiimu eno eyingira enkambi nga 4, August, 2017 okusinziira ku mutendesi Rafeal Kasajja.

Abaayitiddwa okwesogga enkambi eno mwe muli abadusi aba Nnaalinnya Lwantale Girls SS e Luweero babiri (Edina Kasuubo mu mmita 800 ne 1500 wamu ne Claire Batyo mu mmita 100/200. Bombiriri bano baayolesezza omutindo ogwa waggulu mu mpaka z’eggwanga ezaamaze wiiki nnamba nga zibumbujjira e Lira ne zikomekkerezebwa nga 15 July.

Omutendesi Kasajja yategeezezza Bukedde nti mu nkambi egenda okumala wiiki nnamba e Lira baakwongera okusunsula mw'abo e 60 abaayitiddwa bafunemu abatono abanaakyikirira eggwanga mu mpaka za East Africa.

Kenya yeefuga ez'omwaka oguwedde

Kenya yefuga empaka ezémisinde ez’omwaka oguwedde mu mizannyo  egyategekerwa mu kibuga Eldoret oluvannyuma lw’okuwangula emidaali egya zaabu 15, feeza 16 n’ez'ekikomo 12 n’eddirirwa Uganda mu ky’okubiri ne zaabu 15, feeza 10 n’ezekikomo 13 ate Burundi n'ekwata kyakusatu n’emidaali 2 egya feeza wamu n’ebiri egy'ekikomo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala