TOP

Cheptegei awangudde Feeza e Bungereza

By Teddy Nakanjakko

Added 5th August 2017

NG"OGGYEEKO okuba nti yawangudde omudaali gwa feeza, Munnayuganda omuddusi w'emisonde emiwanvu Joshua CHeptegei asekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwangula ddoola emitwalo esatu (eza Uganda obukadde 108) nga zino yaziwangulidde mu kisaawe kya Queen Elizabeth Olympic Park mu mpaka z'ensi yonna ezaggyiddwaako akawuuwo ku Lwokutaano mu kibuga London ekya Bungereza.

Cheptegei1 703x422

Cheptegei ng'asanyukira obuwanguzi bweyatuuseeko

Bya TEDDY NAKANJAKKO

London Bungereza 

BASAJJA mmita 10,000 fayinolo 

Mo Farah  GBR  26:49.51 WL

Joshua Kiprui Cheptegei  UGA  26:49.94 PB

Paul Tanui Kipgetich  KEN   26:50.60 

 


Cheptegei eyayingidde ensiike y'Olwokutaano n'ekigendererwa ky'okwerabiza Bannayuganda ebyatuukaawo mu March e Kololo bwe yabawa essuubi kyokka n'amalira mu kya 30  yabadde mu maliririvu okuviira ddala lwe baasimbuddwa ng'obwedda y'avuga ne banne wadde awamu obwedda awanyisiganyaamu ne Bannakenya Geoffrey Kamworor ne Paul Tanui. 

NG"OGGYEEKO  okuba nti yawangudde omudaali gwa feeza, Munnayuganda omuddusi w'emisonde emiwanvu Joshua CHeptegei asekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwangula ddoola emitwalo esatu (eza Uganda obukadde 108)  nga zino yaziwangulidde mu kisaawe kya Queen Elizabeth Olympic Park mu mpaka z'ensi yonna ezaggyiddwaako akawuuwo ku Lwokutaano mu kibuga London ekya Bungereza.    

Nga yaakava mu kisaawe Cheptegei eyabadde omusannyufu eby’ensusso yagambye nti, kinkoze bubi nti Mo Farah tagenda kuddamu kudduka mu kisaawe oluddako mbadde mukuba naye era wano kale ekyantuukako mu Kampala mu mwezi gwa March kati nkibala nga lufumo, bwatyo Joshua Cheptegei bwe yategeezezza nga yaakamala okuwangula omudaali gwa feeza mu mpaka z'emisinde gy'ensi yonna egya IAAF World Championships London 2017.

Mmanyi kati Bannayuganda bampagidde era byonna ebyatuukawo y'essaawa tubyerabire ate kati Mo Farah kaawumudde ffe tuddawo bwe  yayongeddeko.  

Ekibinja kibadde kikakali nga buli omu alwana y'ensonga lwaki tusobodde okukola obulungi.

Twayingidde ekisaawe nga ttiimu y'abaddusi basatu nga tutunuulidde kukaluubiriza balala era ndowooza kino nkikoze kuba ne Mo Farah awangudde avuddewo atenda ng'emisinde bwe gibadde emikakali.

 

Cheptegei yeegasse ku baddusi ba Uganda abaakawangulira eggwanga emidaali mu mpaka nga zino okuli Davis Kamoga, Dorcus Inzikuru, Moses Kipsiro, Solomon Mutai ne Stephen Kiproitich.  

Mo Farah ne Cheptegei baakuddamu okubulonda ku Lwokusatu mu mmita 5000 yadde nga maneja wa Cheptegei Omuddakki Jurrie agamba baluubirira buwanguzi nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata